Amawulire

Tewali Kiremesa Nadiope kufuuka Kyabazinga- Kkooti

Ali Mivule

September 12th, 2014

No comments

Kyabazinga 2

Kkooti enkulu egobye okusaba okwassibwaayo abawakanya okulondebwa gwa William Gabula Nadiope nga Kyabazinga wa Busoga

Omulamuzi Godfrey Namundu agambye nti abalangira omwenda bonna tabasobola kuba nga baakola nsobi kale nga y’ensonga lwaki tasobola kuyimiriza kyebaasalawo

Omulangira Edward Colombus yeeyakulemberamu abagenda mu kkooti nga bagaala okutuuza Nadiope kuyimirizibwe

Ebisaliddwaawo kooi birese aba Nadiope bajaguza era nga bakyesunga omukolo ogugenda okubeera ku lubiri e Bugembe olunaku lw’enkya

Gabula agenda kutuuzibw olunaku lw’enkya nga keetalo okuva eri abasoga n’abakulembeze ku mikolo gino.

Busoga kuva mu mwana gwa 2008 nga terina Kyabazinga oluvanyuma lw’okufa kwa Henry Wako Muloki.