Amawulire

2000 tebaabaliddwa

Ali Mivule

September 11th, 2014

No comments

Abantu okuva mu maka 200 beebatabaliddwa mu kubala abantu okwakakomekkerezebwa Ab’ekitongole ekibala abantu ekya Uganda Bureau of Statistics beebategeezezza bati Akulira ekitongole kino Ben Mungyereza agamba nti abantu mu maka agoogerwaako, beebamu ku b’ekidiini ekitakkirirza mu kubala bantu ate abalala bbo tebaali waka. Mungyereza wabula […]

Buganda : Muvunaane abatta abeekalakaasi

Ali Mivule

September 10th, 2014

No comments

Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu bakangudde eddoboozi ku kya gavumenti obutabaako ky’ekolera abakuumi abatta abaali beekalakaasa olw’ensonga za Buganda. Okwekalakaasa kuno okwaddirira omutanda okugaanibwa okugenda e Bugerere kwaleka abantu abasoba mu 20 nga battiddwa Omunonyereza n’ekibiina ekirwanirizi ky’eddembe ly’obuntu ekya Human Rights Watch Maria Burnett agamba nti […]

teri kutunda ttaka lya Kampala Parents

Ali Mivule

September 10th, 2014

No comments

Kkooti eyisizza ekiragiro ekiyimiriza okutunda ettaka okutudde essomero lya Kampala City Parents School. Omuwandiisi wa kkooti y’ebyobusuubuzi Thaddeus Opeseni y’ayisizza ekiragiro kino. Ettaka lino banka ya Uganda Development bank ebadde yalyezza oluvanyuma lw’essomero okulemererwa okusasula obukadde 700 zeeryewola Ettaka eryogerwaako lisangibwa Kibiri mu disitulikiti ye […]

Ababala abantu beekalakaasizza

Ali Mivule

September 10th, 2014

No comments

Abaabala abantu e Masaka bavudde mu mbeera nebekalakaasa lwa musaala Abantu bano bakungaanidde mu kibuga kye Nyendo nga bagaala kusasulwa nsimbi zaabwe Abantu bano ng’abasinga bayizi ba matendekero agawaggulu bagamba nti beerekerezza okusoma okusobola okufuna ku ka ssente kyokka nga kyannaku nti tebaasasuddwa Bano nno […]

Abasibe ababadde batoloka battiddwa

Ali Mivule

September 10th, 2014

No comments

Abasibe babiri ababadde batoloka mu kkooti mu ggwanga lya South Africa bakubiddwa ebyaasi ebibattiddewo. Abasibe bano babadde balindiridde kuwulira misango gyaabwe kyokka nebagwa ku mmundu ebadde mu kipipa kya kasasiro. Bano batandikiddewo okuwanyisiganya amasasi ne poliisi era gyebigweredde nga battiddwa Bino bibadde ku kkooti enkulu […]

Ba Mafia beefuze NSSF

Ali Mivule

September 10th, 2014

No comments

Eyali akulira ekitavvu ky’abakozi Richard Byarugaba  ategezezza nga bwewaliwo akakundi k’abamafiya abeesomye okulemesa pulojekiti z’ekitavvu kino. Bwabade alabbiseeko mu kakiiko ka parliament akalondoola enonga zino, byalugamba agambye nti waliwo banakigwanyzi abataagaliza nkulakulana mu kitavvu kino, nga bano bazze bateekawon obusonga songa kko nokukwata ensi=obi mubuli […]

Enkyukakyuka mu poliisi-Kaweesi azze mu bikwekweto

Ali Mivule

September 10th, 2014

No comments

Ab’oludda oluvuganya gavumenti tebalina ssuubi mu nkyuukakyuuka za poliisi ezaakoleddwa akawungezi akayise. Olunaku olw’eggulo ssabapoliisi w’eggwanga yakyuusizza abaserikale abenjawulo nga kati abadde aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi y’akulira ebikwekweto byonna nga Haruna Isabirye yeyazze mu kifo kye. Kati Grace Turyagumanawe abadde akulira […]

Abeekalakaasi bakwatiddwa

Ali Mivule

September 9th, 2014

No comments

Poliisi  wano mu Kampala eriko abavubuka 4 bekutte nga bekalakaasa lwa bbula ly’emirimu. Bano bekalakaasilirizza mu bifo ebyenjawulo okulaga obutali bumativu bwaabwe.

Abadde akabasanya abaana

Ali Mivule

September 9th, 2014

No comments

Mu district  eye Gulu Omukazi ow’emyaka 37 akwatiddwa lwakukabasanya obulenzi 2. Betty Adong y’akwatiddwa lwakukola bikolwa byansonyi ku balenzi bano okuli ow’emyaka 14 ne 15 ku kyaalo Ocim mu gombolola ye Lalogi. Agavaayo galaga nti Nakyaala ono yabadde ku bugenyi mu maka g’abazadde b’abaana bano,wabula […]

Poliisi erabudde abe Kayunga ku kwekalakaasa

Ali Mivule

September 9th, 2014

No comments

Poliisi mu disitulikiti y’e kayunga egaanye okusaba kw’abamusaayi muto b’ekibiina kya Dp, nga bano baabade bategesse  okukungubaga nga bajjukira nga bwejiweze emyaka 5 bukyanga Ssabasajja agaanibwa okugenda mu ssaza lye elye Bugerere. Abavubuka bano nga bakulembeddwamu  Anthony Wandimba baabadde baagumbye dda e Kayunga okwetegekera okukungubaga […]