Amawulire

Basatu bafiiridde mu kabenje

Ali Mivule

October 15th, 2014

No comments

Abantu basatu bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara. Abafudde kuliko Asiati Nabukenya n’abaana be babiri okubadde ne bebi w’emyezi 3 Akabenje kano kagudde ku kyaalo Kyabogo e Kingo mu disitulikiti ye Lwengo. Emmotoka ebadde ewenyuka obuweewo No.UAS 307R ebadde […]

Mwewale Mbabazi

Ali Mivule

October 15th, 2014

No comments

Abawagizi b’ekibiina kya NRM mu butundu by’ensozi za Elgon basabiddwa okwewala eyali ssabaminister w’eggwanga Amama Mbabazi. Bwabadde asisinkya abakulembeze ba NRM okuva mu district ye Manafwa nampala w’ababaka ba NRM mu parliament Justine Kasule Lumumba agambye nti Mbabazi kati kyakulabirako kibi eri abawagizi ba NRM. […]

E Gulu Kasattiro ka Marburg

Ali Mivule

October 15th, 2014

No comments

Mu ddwaliro lye Lacor bwerinde bwenyini oluvanyuma lw’omulwadde atwaliddwawo nga ateberezebwa okubeera n’ekirwadde kya Marburg. Akulira eddwaliro lino , Dr Cyprian Opira agamba omulwadde ono ayawuddwa ku balala nga bwebalinda ebinaava mu kukeberebwa. Omulwadde ono yatwaliddwa mu ddwaliro lino nga alina obubonero bw’abalina Marburg nga […]

Mbabazi agobwe- abavubukaba NRM

Ali Mivule

October 15th, 2014

No comments

Bamusaayi muto b’ekibiina kya NRM baagala ssabawandiisi w’ekibiina kyabwe  Amama Mbabazi nga bamulumiriza okukukuta n’abamu ku bannakibiina mu nkiiko ezitategerekeka. Ssabawandiisi w’ekiwayi kyu’abavubuka bano , Robert Rutaro agamba Mbabazi takyalina kipya kyayongera ku kibiina kyabwe nga era takyasaana kukungabannakibiina. Rutaro alumiriza Mbabazi okusimbila ekkuuli ekya […]

Obubizzi bwa kyenvu butwaliddwa makerere

Ali Mivule

October 15th, 2014

No comments

Waliwo obubizzi obulala obusuuliddwa ku mugukkirizo gw’ettendekero ly’e Makarere nga butereddwako ekiwandiiko ekyemulugunya ku bbula ly’emirimu mu bavubuka. Tekinamanyika ani asuddewo obubizzi buno obuleeteddwa mu bookisi nga abayise baagala kugisumulula. Abantu bbo nno obwedda bakungaanira ku bubizzi buno nga kyebagaala poliisi esumulule ekibokisi mwebubadde basobole […]

Ekizimbe kya Mabirizi complex Kiggaddwa

Ali Mivule

October 15th, 2014

No comments

Abasuubuzi bakyakonkomaliridde ku miryango gy’amaduuka gaabwe ku kizimbe kya Mabirizi complex ekigaddwa KCCA. Abasuubuzi bano bemulugunya nga bwebaasasula buli nsimbi yetagisa kale nga tebalaba nsonga egazzaawo kizimbe kyabwe twogeddeko n’abamu ku basuubuzi. Omwogezi wa KCCA Peter Kawujju akakasizza okugalwa kw’ekizimbe kino kubanga tekilambulwanga.

Abafumbo bajjiridde mu nju

Ali Mivule

October 14th, 2014

No comments

Waliwo abafumbo babiri abafiiridde mu muliro ogugambibwa okuba nga gukumiddwa ow’omutima omubi. Bino bibadde ku kyaalo Rwamutonga mu gombolola ye Bugambe nga kiteberezebwa nti kino kyandiba nga kivudde ku nkayaana ku ttaka Enock Dara Karim ow’emyaka 55 ne mukyala we Margret Yunice beebafudde oluvanyuma lw’enju […]

Ogwa Sebaggala ne MTN guyingiddemu omulala

Ali Mivule

October 14th, 2014

No comments

KKampuni ya MTN yewozezzaako ku ky’okukozesa amaloboozi g’eyali meeya Alhajji Nasser Ntege Ssebagala ku buyimba bwaayo ku masimu Omukungu mu MTN Christopher Ssali ategeezezza kkooti amaloboozi gano gabaweebwa kkampuni ya SMS Media nga nabo omusango ssi gwaabwe Ng’ali mu maaso g’omulamuzi Christopher Madrama Ssali agambye […]

Kkooti terina ssente

Ali Mivule

October 14th, 2014

No comments

Kkooti y’amaggye ekyalemereddwa okuddamu okuwozesa abe kasese ng’obuzibu ssente Kkooti eno ebadde erina okuwulira emisango gy’abantu 54 agambibwa okuvaako ekitta bantu e Bundibuggyo kyokka nga ssibwekibadde olw’ebbula ly’ensimbi. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Rwenzori Capt. Ceaser Olweny agamba nti bategeezeddwa kkooti nti bakyanoonya nsimbi […]

Abaana abanywa omwenge beeyongedde

Ali Mivule

October 14th, 2014

No comments

Omuwendo gw’abaana abato abanywa omwenge gulinnya buli lukya Okunonyereza okukoleddwa mu kampala kulaga nti abaana abato abaweza ebitundu 52 ku kikumi banywa omwenge Abaana aboogerwaako beebali wakati w’emyaka 10 ne 19 Ssabwandiisi w’omukago ogulwanyis aomuze gw’abaana abato okunyw aomwenge Rogers Mutaawe agamba nti ekisinze okuleeta […]