Amawulire

Abafumbo bajjiridde mu nju

Ali Mivule

October 14th, 2014

No comments

fire guts buildings

Waliwo abafumbo babiri abafiiridde mu muliro ogugambibwa okuba nga gukumiddwa ow’omutima omubi.

Bino bibadde ku kyaalo Rwamutonga mu gombolola ye Bugambe nga kiteberezebwa nti kino kyandiba nga kivudde ku nkayaana ku ttaka

Enock Dara Karim ow’emyaka 55 ne mukyala we Margret Yunice beebafudde oluvanyuma lw’enju yaabwe okutekeerwa omuliro

Omwogezi wa poliisi mu bugwanjuba bw’eggwanga Lydia Tumushabe agambye nti poliisi ekyanonyereza okukakasa oba abafumbo bano battiddwa buttibwa

Kansala w’omuluka gwe Katanga Nelson Atichi amaze okukwatibwa nga kigambibwa okuba nti y’abadde akola akola ku musango abagenzi gwebaali bawaaba ku ttaka

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *