Amawulire

Ogwa Sebaggala ne MTN guyingiddemu omulala

Ali Mivule

October 14th, 2014

No comments

seya

KKampuni ya MTN yewozezzaako ku ky’okukozesa amaloboozi g’eyali meeya Alhajji Nasser Ntege Ssebagala ku buyimba bwaayo ku masimu

Omukungu mu MTN Christopher Ssali ategeezezza kkooti amaloboozi gano gabaweebwa kkampuni ya SMS Media nga nabo omusango ssi gwaabwe

Ng’ali mu maaso g’omulamuzi Christopher Madrama Ssali agambye nti ssinga omusango gubasinga, aba SMS Media beebalina okusasula kubanga beebawa amaloboozi

SSali agambye nti batandika okukozesa amaloboozi gano mu mwaka gwa 2011 era nebakoma nga 2013 oluvanyuma lw’okukakasa nti Seya yali teyebuuzibwaako

Agenze mu maaso n’ategeeza nti bakola obukadde mwenda okuva mu doboozi lya Seya nga sebaggala tasobola kusaba buwumbi 8 z’ayagala

Eddoboozi lya Seya lyaali likozesebwa ng’akayimba k’amasimu mu doboozi eryakwatibwa mu mwaka gwa 2011.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *