Amawulire

KCCA emenye ab’e Wandegeya-Abasuubuzi balajanye

Ali Mivule

October 24th, 2014

No comments

E Wandegeya KCCA emenye obuyumba bw’abasuubuzi obubadde kumpi n’oluguudo n’obuli ku bifuji. Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju agamba obuyumba buno buliwo mu bukyamu  nga era abasuubuzi bano balabuddwa enfunda eziwera okubugyawo wabula nga baling abafuuyira endiga omulele. Agamba bano baziba ekkubo mukoka w’alina okuyita nga […]

Emirimu gisanyaladde nga Besigye akwatibwa

Ali Mivule

October 23rd, 2014

No comments

Emirimu gisanyaladde ku Hotel ya Brovad e Masaka, poliisi bw’ezinzeeko ekifo n’egoba Dr Kiiza Besigye okuva mu lukiiko olutegekeddwa bannakyeewa Abasirikale abampi n’abawanvu bayiiriddwa ku wooteri ebweru nebalagira Besigye okufuluma Olukiiko luno lubadde lutegekedde kukungaanya birowoozo okuva eri abakulembeze b’ebitundu, bannabyabufuzi, bannaddiini n’abantu ba bulijjo […]

Emisango gyakwanguwa

Ali Mivule

October 23rd, 2014

No comments

Ekitongole ekiramuzi kitongozezza enteekateeka z’okugaba amangu ebibonerezo eria bantu abakkiriza emisango. Ekigendererwa kukola ku bantu mangu era baweebwe ebibonerezo okwewala okubaleka mu makomera nga tebawozesebwanga Atwala abalamuzi, Yorokaamu Bamwine agamba nti era abantu abakkiriza emisango basalirwa ku bibonerezo kubanga baba tebatawanyizza kkooti N’abantu ba bulikko […]

Kkooti egobye okusaba kw’abagambibwa okuba abatujju

Ali Mivule

October 22nd, 2014

No comments

Kkooti etaputa ssemateeka egobye okusaba okwakolebwa abagambibwa okubeera abatujju nga bawakanya eky’okuwozesebwa mu Uganda Abantu bano 11 babadde bawakanya eky’okubajja mu ggwanga lya Kenya ne Tanzania okuvunaanibwa mu kkooti za wano Abalamuzi abataano aba kkooti ya semateeka nga bakulembeddwaamu Steven Kavuma bategeezezza nga bwewataliiwo tteeka […]

Laddu ekubye abaana

Ali Mivule

October 22nd, 2014

No comments

Mu disitulikiti ye Tororo laddu ekubye abaana b’essomero 9 .   Bano bonna bayizi mu ssomero lya  Abubakari Primary School  nga era baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.   Omu ku bakozi b’essomero lino Rose Atabong  nga y’abaddusizza mu ddwaliro ategezezza nga bano laddu bwebakubye […]

Ogwa Namubiru gujulidde

Ali Mivule

October 22nd, 2014

No comments

Okuwulira okujulira kw’omusawo eyasibwa emyaka 3 olw’okukuba omwana empiso ya siriimu kwongezeddwayo okutuusa nga 6 November. Rose Mary Namubiru awakanya ekibonerezo kino nti kikakali Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu Festo Nsenga ategezezza nga ensalawo ku musango guno tenategekebwa nga n’omulamuzi ali mu mitambo gy’omusango guno […]

asangiddwa ne muk’omusajja akubiddwa mbooko

Ali Mivule

October 22nd, 2014

No comments

E Buyende kkooti y’ekyaalo etanzizza omusajja kimeeme w’embuzi 3, ente 1 saako n’okumuswanyula embooko 12 lwakwenda ku muka muliraanwawe. Magno santos y’akwatiddwa nga yekejja ne muka muliraanwa wabula poliisi nemutaasa ku batuuze ababadde bagala okumumiza omusu okukomya ejjoogo. Nanyini Mukazi Abdul      Muwuma abanjizza omutwalo […]

Obukadde 15 eri amanyi eyatta Kasiwukira

Ali Mivule

October 21st, 2014

No comments

Ab’ekibiina ekitaba abaggagga ekya Kwagalana bataddewo obukadde 15 eri omuntu anawa amawulire agakwata ku Muntu eyatomera kasiwukira Nga basisinkanye aduumira poliisi, gen Kale Kaihura, abagagga bano abakulembeddwaamu Bulayimu Kibirige bagambye nti bakusiima omuntu yenna anabayamba okutegeera kalibutemu eyatomera Kasiwukira Mu nsisinkano yeemu, Gen Kaihura alagidde […]

URA tesasula za bupangisa

Ali Mivule

October 21st, 2014

No comments

Ekitongole ekikola ku ntambula z’enyonyi kiragiddwa okufumuula ab’ekitongole ekiwooza mu wofiisi Entebbe lwabutasasula za bupangisa Bano nno yadde bazipeeka abalala, naye nga nabo babanjibwa obuwumbi butaano mu z’omupangisa Ofiisi y’abawooza Entebbe tebagisasula era nga baludde nga babanjibwa naye nga tebenyenya Akakiiko ka palamenti akakola ku […]

Amaggye geesambye Mbabazi

Ali Mivule

October 21st, 2014

No comments

Amaggye g’eggwanga galumbye bannamawulire olw’okugayingizaamu eby’obufuzi Kiddiridde amawulire agafulumye nga galaga  Gen Kale Kaihura, Maj Gen Jim Muhwezi, ne Brig Ronie Barya balabe b’eyali ssabaminista Amama Mbabazi ate nga yye Brig James Mugira bamwogeddeko nga nfanfe we. Omwogezi w’amaggye g’eggwanga Lt Col Paddy Ankunda agamba […]