Amawulire

Mwewale Mbabazi

Ali Mivule

October 15th, 2014

No comments

lumumba kasule

Abawagizi b’ekibiina kya NRM mu butundu by’ensozi za Elgon basabiddwa okwewala eyali ssabaminister w’eggwanga Amama Mbabazi.
Bwabadde asisinkya abakulembeze ba NRM okuva mu district ye Manafwa nampala w’ababaka ba NRM mu parliament Justine Kasule Lumumba agambye nti Mbabazi kati kyakulabirako kibi eri abawagizi ba NRM.
Lumumba era ekikatiriza nga Mbabazi bweyagyibwako edda emirimu gya Ssabawandiisi wa NRM, negyiwebwa Richard Todwong okutuuka ekibiina byekinategeka okulonda okulala.
Lumumba era agambye nti Mbabazi nakigwanyizi, eyeyagaliza entebe y’obwa pulezidenti mu mwaka gwa 2016.
Wabula kinajukirwa nti n’okutuusa kati Mbabazi tavangayo kulangirira ngabwagenda okuvuganya president Museveni mu 2016.