Amawulire

Abalwanyisa enguzi batabukidde Amama Mbabazi

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

Eby’eyali ssabaminisita w’eggwanga bikyalanda. Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga baagala okunonyereza ku misango gyonna egy’obulyake egyali mu ofiisi ya Ssabaminisita ekiseera Amama Mbabazi kyabadde ssabaminisita. Bano bagamba nti ekisanja kya Mbabazi nga ssabaminisita kifumbekeddemu obuli n’enguzi n’obulyake kale nga okunonyereza kwetagisa. Bano bajukizza obuwumbi obusoba […]

Mukole, NRM ssi yabazannya

Ali Mivule

September 27th, 2014

No comments

Pulezidenti Museveni agamba nti ekibiina kya NRM ssi kyabagaala omuzannyo. Ono agamba nti oyo yenna adda mu muzannya, wakiri ave mu kibiina. Pulezidenti Museveni bino abyogedde ayogerako eri abantu abamwanirizza okuva mu Amerika olunaku lwaleero. Pulezidenti akunze abavubuka okwekolamu omulimu bafune mu nteekateeka za gavumenti […]

Abasomesa bakufuna amayumba

Ali Mivule

September 27th, 2014

No comments

Minisitule ekola ku by’enjigiriza etaddewo obuwumbi obusoba mu butaano okuzimbira abasomesa ba pulayimale amayumba Kino kiddiridde okwemulugunya ku basomesa abangi abeepena okusomesa olw’engendo zebatindigga okugenda okusomesa naddala mu byaalo. Minisita ow’ebyenjigiriza ebya waggulu, J.C Muyingoagamba nti nga kino kiwedde, amaanyi bakugateeka ku basomesa aboosa kubanga […]

200 bazzeeyo e Buduuda

Ali Mivule

September 27th, 2014

No comments

Abantu okuva mu maka agasoba mu 200 basenguse okudda mu maka gaabwe e Buduuda Bano beebamu ku bava mu maka 600 abasengulwa nebatwalibwa e Kiryandongo oluvanyuma lw’okusengulwa ettaka eryabumbulukuka ku lusozi Elgon Ssentebe wa disitulikiti John Baptist Nambeshi agamba nti abantu bano bagamba nti ettaka […]

Akutte ku katima amalidde mu kkomera

Ali Mivule

September 27th, 2014

No comments

Omusajja akutte ku katima mu maaso g’omu poliisi emirundi ebiri aggaliddwa lwakukyankalanya mirembe mu kitundu Malcolm Gill, okuva mu kibuga Dalton akkiriza nti omukka gumutoloseeko ng’abadde takyasobola kwekuniza Omupoliisi gw’akosezza y’amukutte n’amutwaala mu kkomera era n’asimbibwa mu mbuga  z’amateeka

Mbabazi ayogera ky’aliko- abavuganya

Ali Mivule

September 26th, 2014

No comments

Amaloboozi agasaba nti abadde ssabaminisita Amama Mbabazi ayogera ky’ayagala geeyongedde Munnamateeka wa gavumenti empabuzi, Medard Lubega SSegona agamba nti Mbabazi wakutuntuzibwa ekiyitiridde ssinga asalawo okusirika nga keekadde alangirire oba wakwesimbawo kitegerekeke. Ssegona agamba nti Mbabazi wakukolebwa buli ekimuswaaza n’ekigendererwa ky’okumumalamu amaanyi Wabula yye omubaka we […]

Museveni anayaanirizibwa nga muzira

Ali Mivule

September 26th, 2014

No comments

Banakibiina kya NRM mu district ya Kampala ne Wakiso bekozeemu omuli okwaniriza omukulembeze w’eggwanga olunaku lw’enkya ku kisaawe Entebbe,ngakabonero akokumwebaza okulonda Dr. Ruhakana Rugunda ku bwa Ssabaminister. Bano nga bakulembeddwamu minister akola kuno naguli Richard Twodong era bategezeza ng’omukulembeze w’eggwanga bweyaweseza eggwanga ekitibwa mu lukungaana […]

Katumba tamatidde alipoota

Ali Mivule

September 26th, 2014

No comments

Amaggye g’eggwanga gatankanye ebyafulumira mu alipoota eyakolebwa ekibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya e Human rights Watch ku Somalia Alipoota eno yayoleka nga ab’amaggye ga UPDF bwebadda ku bakyala ate beebalina okukuuma nebabavvoola omuli n’okubakaka omukwano. Ng’ayogerako eri bannamawulire Gen Katumba Wamala ng’ono y’aduumira amaggye agambye […]

Omwana agudde mu luzzi n’afa

Ali Mivule

September 26th, 2014

No comments

Entiisa ebuutikidde ku kyaalo Kyakadaali mu gombolola ye Kitenga Mubende,omwana bw’agudde mu luzzi n’afirawo. Omwana afudde ye Justine Nakaweesi wa myaka munaana Nakaweesi abadde ne banne basatu  nga bagenze okusena amazzi wabula ono mu kusena aseeredde  n’agwa mu luzzi. Banne badduse mangu okuyita taata waabwe […]

Basse owa Boda

Ali Mivule

September 26th, 2014

No comments

Poliisi e Mubende eri ku muyiggo gw’abatemu abateeze owa Bodaboda nebamukuba enyondo nebamutta olwonebakuulita ne pikipiki ye Ettemu lino libadde ku kyaalo mugungulumu mu Gombolola ye Bageza e Mubende. Omugenzi ye Gadi Muyimbise nga wa myaka 30 Omulambo gw’omugenzi gulabiddwa abatuuze ababadde bagenda mu nnimiro […]