Ebyobulamu
Olutalo ku sigala lutandise
Gavumenti mu ggwanga lya bufaransa eyanjizza enteekateeka y’omuggundu mw’egenda okuyita okulwanyisa omuze gw’okufuuweeta sigala Bano bagenda kukaka abakola sigala okumussaako ebigambo beimulabula abamunywa n’okusomesa abavubuka Mu ggwanga lya Bufaransa , abavubuka beebasinga okukozesa sigala era nga bangi ate bamufuuweetera mu kinyumu Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga […]
Muliise bulungi abaana
Abazadde bajjukiziddwa ku bulungi bw’okuwa abaana baabwe emmere erimu ebiriisa byonna nga bawezezza emyezi mukaaga Omusawo w’abaana mu ddwaliro lya MildMay Dr Jane Kaweesi agamba nti abakyala abasinga naddala abasoose okuzaala bagaana okuwa abaana baabwe emmere yadde nga bawezezza emyezi mukaaga kale nga baba babakotoggera. […]
ekikola ebyuuma kizze
Ebyuuma ebifafaafa mu ddwaliro e Mulago byakulongosebwa kati mu bwangu Ekitongole ekikola ku ndwadde ezibuna amangu kifunye emmotoka eriko buno byuuma ebikozesebwa mu kulabirira ebyuuma by’eddwaliro. Akulira ekitongole kino Alex Cotino agamba nti emmotoka eno ebalirirwaamu obukadde 600 yakuyamba mu kulongoosa ebyobulamu kubanga ebyuuma bija […]
NRM ejaganya lwa ssabaminisita omujja
Pulezidenti Museveni wakwanirizibwa nambuutu oluvanyuma lw’okulonda Ssabaminisita omujja . Abawagizi ba NRM e Wakiso ne Kampala wowulirira bino nga bategekedde omukulembeze w’eggwanga akabaga olw’okubalondera Dr.Ruhakana Rugunda nga ssabaminisita omujja oluvanyuma lw’okufuumula Amama Mbabazi. Nga bakulembeddwamu ssentebe w’abavuibuka ba NRM e Wakiso Andrew Kiryoowa, […]
UPDF etangazizza eky’okugya amaggye ewa Mbabazi
Amaggye ga UPDF gategezezza nga bwegalwawo okujjayo abajaasi baago ababadde bakuuma eyali ssabaminisita Amama Mbabazi. Olunaku olw’eggulo amaggye gaggyeyo abajaasi baago mu maka ga Mbabazi e Kololo n’asigaza abaserikale ba poliisi abakuuma abantu b’ebitiibwa. Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olunaku olwaleero, ssabadumizi w’amaggye […]
Buganda lwazi ssi Nva ndiirwa
Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga agamba nti Buganda Lwazi, si nva ndiirwa nti ejja kuwotoka. Kamalabyonna bino abyogedde ayogera eri abantu be saabagabo mu kufundikira okusolooza ettofaali. Katikkiro agambye nti waliwo abantu abalemesa ettofaali nga balyogerera naye nga terivudde kati kubanga ne bajjajja […]
Omulonzi awaabye lwa tteeka ku bisiyaga
Palamenti ekubiddwa mu mbuga z’amateeka lw’ababaka okwebulankanya mu kuyisa etteeka ku bisiyaga nga 20 December omwaka oguwedde Etteeka lino lyasazibwamu kkooti lwababaka abaaliyisa okuba nga baali tebawera bassalira. Peter Nalonda nga Yinginiya era omu ku baziyiza obuzzi bw’emisango ku kyalo Kirombe Butabika mu division ye […]
Abalema bakaaba
Abantu abalina obulemu ku mibiri gyaabwe bakyasanga obuzibu bwa maanyi okufuna obuyambi okuva mu bibiina by’obwegassi Okusinziira ku kibiina ekikola ku bantu b’ekika kino, abawerera ddala emitwalo 20 beebatayambibwa Akulira ekibiina kino Edison Ngirabakunzi, agamba nti amagoba agasabwa ebibiina bino nago gali waggulu nga bangi […]
Abooza emmotoka basse abantu
Polisi ye Luweero etandise omuyiggo gw’abooza emmotoka abatomedde abantu 3 nebabattirawo. Kigambibwa nti bakanaabe bano basimbudde emotooka ekika kya Saloon UAD 436W gyebabadde bayoza, era nebatomera omukyala n’omwana we wamu n’omugoba w’akagaali ku kyalo Piida ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggulu. Omwogezi wa […]
Amaggye gambudde Mbabazi abakuumi wakati mu by’okwerinda kasiggu
Amaggye ne poliisi wetwogerera nga beebulunguludde amaka g’abadde ssabaminisita John Patrick Amama Mbabazi. Emotoka za poliisi bbiri zisimbye ebweru ate nga munda namwo mulimu bannamaggye ne poliisi. Amaka agoogerwaako gasangibwa ku luguudo olumanyiddwa nga Kal e Kololo. Amaggye gakulembeddwaamu Brig Leo Kyanda nga bano tukitegedde […]