Amawulire

Omulonzi awaabye lwa tteeka ku bisiyaga

Ali Mivule

September 25th, 2014

No comments

Parliament sitting

Palamenti ekubiddwa mu mbuga z’amateeka lw’ababaka okwebulankanya mu kuyisa etteeka ku bisiyaga nga 20 December omwaka oguwedde

Etteeka lino lyasazibwamu  kkooti lwababaka abaaliyisa okuba nga baali tebawera bassalira.

Peter Nalonda nga Yinginiya era omu ku baziyiza obuzzi bw’emisango ku kyalo Kirombe Butabika  mu division ye Nakawa ayagala Kkooti eyimirize gavumenti okukozesa ensimbi y’omuwi w’omusolo okusasula abaawaaba omusango gw’okusazaamu etteeka lino olw’ababaka obutawera.

Nalonda ayagala  kkooti eragire  ababaka bonna basasule  ssente zino oluvanyuma lw’abawaaba okusinga omusango gw’okusazaamu etteeka ku bisiyaga olw’ababaka obutawera bassalira ku baalina okuyisa amateeka.

Agamba ababaka bano baweebwa bulungi amateeka gebalina okugoberera nga bakole emirimu gyaabwe okuli okwetaba mu ntuula za palamenti kale nga bano basaana okusasula olw’okwebulankanya nga etteeka ekkulu bwerityo liyisibwa.

Nalonda  ayagala Kkooti erangirire nti ekikolwa ky’ababaka bano kyenkanankana n’okulya munsi olukwe, okukozesa obubi ofiisi yaabwe ssaako n’okufiirizibwa gavumenti obulindo bw’ensimbi.

Nga  August 1st 2014 Kkooti etaputa ssemateeka y’asazaamu etteeka ku bisiyaga lwababaka butawera nga etteeka lino liyisibwa.