Amawulire

Abooza emmotoka basse abantu

Ali Mivule

September 25th, 2014

No comments

washing bay

Polisi ye Luweero etandise omuyiggo gw’abooza emmotoka abatomedde abantu 3 nebabattirawo.

Kigambibwa nti bakanaabe bano basimbudde emotooka ekika kya Saloon UAD 436W gyebabadde bayoza, era nebatomera omukyala n’omwana we wamu n’omugoba w’akagaali ku kyalo Piida ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggulu.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bwa Ssavana n Lameck Kigozi agambye nti abafudde kuliko Nalubwama 35  omutuuzi we kikuba ne Paul Kanihuru 40 abadde avugga akagaali.

Wano kigozi wasinzidde nalabula bakanaabe wamu n’ebamakanika okwewala okuva emotooka ezitali zabwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *