Ebyemizannyo

Palamenti anaasima she cranes

Ali Mivule

September 25th, 2014

No comments

Palamenti olwaleero esuubirwa okusiima ttiimu y’abakyala ey’okubaka eya  she cranes. Ttiimu eno yakomyewo okuva e Botswana nga eyiseemu okuzanya mumpaka z’ensi yonna mu Australia Omwka ogujja oluvanyuma lw’okuwangula enzanya zaayo zonna.

Akulira essomero yesse- ab’oluganda babiwakanya

Ali Mivule

September 25th, 2014

No comments

Poliisi e  Mbale ekyanonyereza ku kufa kw’omukulembeze w’essomero lya Nabumali High school. Olunaku olw’eggulo John Mungoma yafudde mungeri etategeerekeka nga abamu bagamba nti yesse. Omwogezi wa poliisi mu bugwanjuba bw’eggwanga Diana Nandawula agamba yadde nga abasinga balowooza yejje mu budde, ab’enyumba y’omugenzi babisambajja nga bagamba […]

Owa Piki bamukubye mizibu

Ali Mivule

September 25th, 2014

No comments

Poliisi ye  Matete mu disistulikiti ye  Ssembabule eri ku muyiggo gw’abatemu abatanategeerekeka abaalumbye omuvuzi wa Bodaboda abaamuwutudde nebakuliita ne pikipikiye UED 217D.. Ben Africa  alilojja nti yawonedde watono okufa oluvanyuma lw’abasajja 2 okumulumba nga annyuka nebamukuba mizibu olwo nebakuulita ne pikipikiye. Dalauusi Jumba nga ono […]

Okwekalakaasa e Kigezi- abayizi bazze ewaka

Ali Mivule

September 25th, 2014

No comments

Poliisi ekyayiiriddwa okwetolola essomero lya  kigezi high oluvanyuma lw’olutalo wakati w’abayizi aba O ne A level. Olunaku olw’eggulo abayizi b’ebibiina ebyawansi baatabuse oluvanyuma lw’abanaabwe okubayeeya okwambala empale enyimpi ekyaviiriddeko olutalo. Bano nabo baasazeewo okwambala empanvu okwenkanakana n’aba A-level abakulu kyebattakirizza olwo embooko n’evuga n’ejinja neritandika […]

Omusuubuzi attiddwa

Ali Mivule

September 25th, 2014

No comments

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyaalo Buduma mu disitulikiti y’e Jinja oluvanyuma lw’okutemulwa kw’omusuubuzi omututumufu. Omugenzi Steven Mugabe asangiddwa nga omulambo gwe gwonna gujuddeko ebiwundu omulambo gw’omgenzi gubadde gugangalamye mu kitaba ky’omusaayi mu nyumba y’abaliraanwa nga gutemeddwako omutwe n’emikono. Ssentebe w’egombolola ya Busagala Abdullah suuta agamba […]

2016: Bukenya asimbudde

Ali Mivule

September 25th, 2014

No comments

Eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya yatandise dda kakuyege w’okwesimbawo ku bwapulezidenti mu 2016. Bukenya olwaleero atongozza ttiimu y’abantu abagenda okumuyambako okuwenja akalulu okwetolola eggwanga. Ekibinja kino mulimu abavubuka, nebannabyabufuzi abakuukutivu nga bano baakukuyega bannaabwe mu bibiina by’obufuzi ebyenjawulo. Bino Bukenya abyasanguzizza mu lukungaana lw’abannamawulire […]

Akojoye mu dduuka

Ali Mivule

September 24th, 2014

No comments

Abantu abalalu gyebali mu nsi eno Omusajja asazeewo okugenda mu dduuka lya Mark and Spencer n’aliyimirira wakati olwo n’atandika okukojowa Asoose kwetoloola dduuka kino nga tannatandika kukojowera bintu birimu era bya pawunda 280 byebyonoonese. Omusajja ono ekyewunyisizza nti olumaze n’afuluma nga talina ky’aguze Bino byonna […]

Abakyala bawagidde kkooti ku Nsenga

Ali Mivule

September 24th, 2014

No comments

Oluvanyuma lwa kkooti okukaliga omukyala Jacqueline Uwera Nsenga , ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abakyala ebyenjawulo bivuddeyo okusiima kkooti olw’ekibonerezo kino. Omukyala Regina Bafaki  nga ono y’akulira ekibiina ekya ACFODE  agambye nti kino ekibonerezo kyabade kisaana ku muntu ng’ono, kuba kigenda kuwa abalala eky’okuyiga obutenyigira mu bikolwa […]

Abagambibwa okuba abatujju bavunaaniddwa

Ali Mivule

September 24th, 2014

No comments

Abateberezebwa okubeera abatujju abakwatbwa gyebuvudeko mu Kisenyi olwaleero basimbiddwa mu kkooti era nebasindikibwa ku alimanda Bano batuusiddwa wakati mu bukuumi kasiggu ku kkooti enkulu olw’eggulo lwaleero. Babadde 10 nga kuliko abasomali 9 ne munnakenya omu ategerekese nga Mohammed Yusuf Farah. Ku ba somaali abasimbiddwa mu […]

Gwebabanja agenze mu woveni

Ali Mivule

September 24th, 2014

No comments

Mu  Georgia omukazi abadde anonyezebwa poliisi yekukumye mu woveni eyokya. Ono poliisi ebadde ewmuwenja olw’ebbanja asangiddwa nga atuuyanidde yenna mu Oven gyeyekukumye oluvanyuma lw’amaka ge okuzingibwako. Desma KaShay Brown, 25, yakozesa kaadi ya munne eya banka olwo n’atumya engoye za doola 428. Poliisi ezze emuyigga […]