Amawulire

Owa Piki bamukubye mizibu

Ali Mivule

September 25th, 2014

No comments

Cyclist attacked again

Poliisi ye  Matete mu disistulikiti ye  Ssembabule eri ku muyiggo gw’abatemu abatanategeerekeka abaalumbye omuvuzi wa Bodaboda abaamuwutudde nebakuliita ne pikipikiye UED 217D..

Ben Africa  alilojja nti yawonedde watono okufa oluvanyuma lw’abasajja 2 okumulumba nga annyuka nebamukuba mizibu olwo nebakuulita ne pikipikiye.

Dalauusi Jumba nga ono ye ssentebe wabavuzi ba bodaboda e Mateete agamba munnaabwe ono yataasiddwa abant abaabadde bakedde okugenda okukola nga baamusanze asuuliddwa ku mabbali w’oluguudo.

Jumba agamba baakabibwako pikipiki 2 mu nnaku 2.

Ono asabye poliisi okwongera ku nnawuna zaayo naddala mu budde bw’ekiro okubayamba okukwata ababbi ababatigomya.

Yye omwogezi wa poliisi mu bitundu bino  Noah Sserunjoji agamba okunonyereza ku nsonga eno kwatandise dda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *