Amawulire

2016: Bukenya asimbudde

Ali Mivule

September 25th, 2014

No comments

Bukenya

Eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya yatandise dda kakuyege w’okwesimbawo ku bwapulezidenti mu 2016.

Bukenya olwaleero atongozza ttiimu y’abantu abagenda okumuyambako okuwenja akalulu okwetolola eggwanga.

Ekibinja kino mulimu abavubuka, nebannabyabufuzi abakuukutivu nga bano baakukuyega bannaabwe mu bibiina by’obufuzi ebyenjawulo.

Bino Bukenya abyasanguzizza mu lukungaana lw’abannamawulire nga aggulawo ofiisi ye e Rubaga.

Bukenya akyalemeddeko nga bwagenda okwesimbawo mu 2016 avuganye Pulezidenti Museveni yadde nga ekibiina kya NRM kyagala omuntu omu y’aba yesimbawo .

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *