Olwali

Ow’ebbeere ly’okusatu alimba

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

Omukyala eyategeeza nga bweyali afunye ebbeere ery’okusatu okukendeeza ku basajja baali bamukwana kizuuliddwa nti yali alimba Omukyala ono ebipya bimuzuuliddwaako nti aliko n’omwana omuto omuwala gweyali yaggalira mu nju ye olwo n’amukulusanya mu mukwano. Omukyala ono Jasmine Tridevil kigambibw aokuba nti ebbeere ly’okusatu yalia sibyeewo […]

Palamenti tekoze bulungi mirimu- Abantu

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

Alipoota afulumiziddwa ebibiina b’obwa nakyeewa eraga nti ababaka ba palamenti tebakoze mulimu gwaabwe ogw’okulondoola ebikolebwa gavumenti Alipoota eraga nti bannayuganda abaweza ebitundu 18.6 ku kikumi bagamba nti ababaka bebalondoola nsansaanya ya gavumenti naddala abakulu mu gavumenti ne wofiisi zebatuulamu Alipoota era eraga nti abantu ebitundu […]

16 bafiiridde mu kabenje e South Sudan

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

Abantu 16 beebafiiridde mu kabenje akagudde ku kyaalo Nistu kilomita nga 35 okutuuka mu kibuga Juba. Akabenje kano keetabiddwamu baasi ya Bakulu coaches no. UAS, 073P  ekonaganye ne Tuleera no, UAD, 300 E. Tuleera eno ebadde ava mu ggwanga lya South Sudan okudda e Kampala […]

Omusawo bamutadde ku kisenge

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

Omu ku basawo abakulembeddemu okujjanjaba abalina ekirwadde kya Ebola mu ggwanga lya Liberia assiddwa mu nkambi oluvanyuma lw’omuyambi we okufa ekirwadde kya Ebola Minisita omubeezi akola ku byobulamu mu ggwanga lya Liberia agamba nti omusawo ono bamwawudde mu bantu kubanga yadde talina bubonero bwonna naye […]

Abe Mubende bafunye abasawo

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

Gavumenti ng’eyita mu minisitule y’ebyobulamu eriko abasawo abakugu 3 b’ewerezza okukola mu ddwaliro ekkulu e Mubende. Abasawo abawerezeddwa mwemuli omukugu mu ndwadde z’amagumba,omukugu mu kunonyereza ku ndwadde ez’enjawulo saako n’omukugu wa x ray. Akulira eddwaliro lino Dr Edward Nkurunziza ategezezza nga bwebatabadde na bakugu bano […]

Kazambi akulukuta

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

Kazambi ayanjadde ku ddwaliro lye Nebbi ekireese okutya nti abalwadde ate bandyeyongera okulwaala Kazambi ono era akulukuta butereevu okutuuka mu mugga Nyacara ate nga guno abantu gwebasenamu amazzi. Omudumu gwa Kazambi ogwaabise gwaddabirizibwa emyaka esatu emabega nga gumase emyaka ebiri nga guli mbeera eno. Omu […]

Essomero kyadaaki lifunye Kabuyonjo

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

Kyaddaaki essomero lya Namwaya primary school mu disitulikiti ye Tororo lifunye kaabuyonjo. Kino kiddiridde Olupapula lwa Daily Monitor okufulumya eggulire ery’omwana wa primary one okukalira mu ssentebe wa diditulikiti eno lwassomero lye butaba na kabuyonjo. Messy Omalla yeewunyisa buli omu ku paleedi y’essomero bweyesimbye butoogo […]

Abaziyiza emisango e Ngora bamaze okutendekebwa

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

Abaziyiza wamu n’okulabula  poliisi ku buzzi bw’emisango gwonna  abasoba mu 1,200 ssibasanyufu n’engeri gyebaasibiddwamu . Okwemulugunya kuno baakukoledde ku matikira gaabwe mu disitulikiti eye Ngora. Bano  ssibasanyufu olw’obutasasulwa nsimbi yonna oluvanyuma lw’emyezi esatu nga batendekebwa. Yye aduumira poliisi y’e Ngora Emmanuel Mafundo abaanukudde nga eky’okubasasula […]

Etteeka ku Bitooke lizze

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Bukomansimbi bayisizza etteeka eri  abakozi bonna okutuula ewaka nga 6 October balanyise ekirwadde kya kiwotokwa ekimazeewo ebitooke n’ekirwadde ky’emmwanyi. Enteekateeka eno erangiriddwa ssentebe wa disitulikiti  Hajji Muhamad Katerega bweyategezezza nga bwewatali kukola ku lunaku olwo abalimi basobole okulwanyisa ebirwadde bino. Ategezezza […]

Asse mukyala we lwa kaboozi

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

E Butalajje omusajja agambibwa okutta mukyalawe  yewaddeyo eri poliisi avunanibwe. Badru Mwima 30  agambibwa okutematema  Juliet Khainza oluvanyuma lw’okumumma akaboozi olwo nadduka zambwa neyewaayo eri poliisi. Kino kyajje abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebe wa LCIII  Patrick Hiire nebalumba poliisi emubawe bamwekolereko. Akulira okunonyereza ku misango ku […]