Amawulire

Etteeka ku Bitooke lizze

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

bANANAS

Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Bukomansimbi bayisizza etteeka eri  abakozi bonna okutuula ewaka nga 6 October balanyise ekirwadde kya kiwotokwa ekimazeewo ebitooke n’ekirwadde ky’emmwanyi.

Enteekateeka eno erangiriddwa ssentebe wa disitulikiti  Hajji Muhamad Katerega bweyategezezza nga bwewatali kukola ku lunaku olwo abalimi basobole okulwanyisa ebirwadde bino.

Ategezezza nga ebikolo byonna ebirina ebirwadde bino bwebigenda okwokyebwa biziikibwe okwewala enddwadde zino okusaasana mu misiri emirala.

Katerega agamba ataagoberere tteeka lino wakusasula engassi ya mitwalo mukaaga oba okusindikibwa mu ddwaliro.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *