Amawulire

UPDF etangazizza eky’okugya amaggye ewa Mbabazi

Ali Mivule

September 26th, 2014

No comments

 

Katumba wamala

Amaggye ga UPDF gategezezza nga bwegalwawo okujjayo abajaasi baago ababadde bakuuma  eyali ssabaminisita Amama Mbabazi.

 

Olunaku olw’eggulo amaggye gaggyeyo abajaasi baago mu maka ga Mbabazi e Kololo n’asigaza abaserikale ba poliisi abakuuma abantu b’ebitiibwa.

 

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olunaku olwaleero, ssabadumizi w’amaggye g’eggwannga Gen Katumba Wamala ategezezza nga bwewatali kyanjawulo kwekyo ekyakoledwa.

Awadde eky’okulabirako nga muk’omukulembeze w’eggwanga naye kati bwakuumibwa poliisi ekuuma