Amawulire

Mbabazi ayogera ky’aliko- abavuganya

Ali Mivule

September 26th, 2014

No comments

Amaloboozi agasaba nti abadde ssabaminisita Amama Mbabazi ayogera ky’ayagala geeyongedde

Munnamateeka wa gavumenti empabuzi, Medard Lubega SSegona agamba nti Mbabazi wakutuntuzibwa ekiyitiridde ssinga asalawo okusirika nga keekadde alangirire oba wakwesimbawo kitegerekeke.

Ssegona agamba nti Mbabazi wakukolebwa buli ekimuswaaza n’ekigendererwa ky’okumumalamu amaanyi

Wabula yye omubaka we Mityana mu bukiikakkono . Godfrey Kiwanda agamba nti Mbabazi yandibadde abivaako kubanga eby’okwesimbawo kwe byakutabangula eggwanga

Wabula ababaka ba parliament abenjawulo bakyagenda mu maaso n’okuvumirira engeri amaggye gyegagyiddwa mu maka ga Mbabazi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *