Amawulire

Basse owa Boda

Ali Mivule

September 26th, 2014

No comments

Poliisi e Mubende eri ku muyiggo gw’abatemu abateeze owa Bodaboda nebamukuba enyondo nebamutta olwonebakuulita ne pikipiki ye

Ettemu lino libadde ku kyaalo mugungulumu mu Gombolola ye Bageza e Mubende.

Omugenzi ye Gadi Muyimbise nga wa myaka 30

Omulambo gw’omugenzi gulabiddwa abatuuze ababadde bagenda mu nnimiro nga gusangiddwa nga gugangalamye mu kitaba ky’omusaayi

Poliisi omulambo egujeewo n’egutwala mu ddwaliro ekkulu e Mubende ng’okwekebejjebwa ng’okunonyereza ku bakoze ettemu lino bwekugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *