Amawulire

Abalwanyisa enguzi batabukidde Amama Mbabazi

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

Mbabazi in Deep thots

Eby’eyali ssabaminisita w’eggwanga bikyalanda.

Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga baagala okunonyereza ku misango gyonna egy’obulyake egyali mu ofiisi ya Ssabaminisita ekiseera Amama Mbabazi kyabadde ssabaminisita.

Bano bagamba nti ekisanja kya Mbabazi nga ssabaminisita kifumbekeddemu obuli n’enguzi n’obulyake kale nga okunonyereza kwetagisa.

Bano bajukizza obuwumbi obusoba mu 200 ezaali ez’okuddukirira abaakosebwa olutalo mu bukiika kkono bw’eggwanga ezabulankana, obukadde 160 mu minisitule y’abakozi ssaako n’ezobugaali ezaali eyo mu buwumbi 5.

Akulira ekibiina kya  Anti-corruption coalition Uganda nga kino kilwanyisa buli bwanguzi , Cissy Kagaba agamba ssente zino zonna tezizuulibwanga nga ate okunonyereza tekwaggwa.

Kagaba agamba ekisanja kya  Mbabazi nga ssabaminisita kibaddemu emivuyo kale nga amudidde mu bigere tasaanye kukwata kkubo lyerimu.

Mungeri yeemu  Peter Wandera  ow’ekibiina kya transparency international agamba ssabaminisita omuggya  Dr Ruhakana Rugunda alina okuwa embalirira k nsaasanya y’ensimbi y’omuwi w’omusolo.