Amawulire

Bannanyini masomero baddukidde mu palamenti

Ali Mivule

July 10th, 2014

No comments

Ekibiina ekigatta bannanyini masomero g’obwannanyini beekubidde enduulu eri sipiika wa palamenti nga beemulugunya ku misolo egyabassibwaako mu mbalirira y’omwaka guno. Nga bakulembeddwaamu Ssentebe waabwe John Bosco Mujumba , bano bategeezezza ng’omusolo guno bwegugenda okwongera okubanyigiriza n’abazadde ate ng’era guzza emabega ebyenjigiriza Yye omu ku bannanyini […]

Eyatomera bba n’amutta bamulumirizza

Ali Mivule

July 10th, 2014

No comments

Okuwulira omusango gw’ettemu oguvunaanibwa omukyala eyatomera bba n’amutta kutandise Jacquline Nsenga yatomera bba eyali amuggulira oluggi lw’ekikomera. Taata w’omugenzi Kananura Nsengaategeezezza kkooti nti mutabani we yalina obutakkaanya n’omukyala ono era ng’omukyala yatuuka n’okugoba Baganda b’omusajja bonna abaali ewaka Omujulizi omulala abadde Joseph Kananura muganda w’omugenzi […]

Ogwa Chris Mubiru guli mu nkukutu

Ali Mivule

July 10th, 2014

No comments

Okuwulira omusango oguvunaanibwa eyali akulira tiimu ya SC Villa Chris Mubiru  kutandise kyokka nga kuli mu nkukutu. Omulamuzi aguli mu mitambo, Lilian Buchana alagidde bannamawulire n’abantu ba bulijjo okufuluma kkooti ng’omusango guno gutandise Mubiru avunaanibwa kusiyaga bavubuka ekitundu ekimenya amateeka ga Uganda. Oludda oluwaabi lugamba […]

Abe Bundibuggyo bakuvunaanibwa mu kkooti y’amaggye

Ali Mivule

July 10th, 2014

No comments

Abantu 112 abaakwatibwa  ku bye Bundibuggyo bakuggulwaako misango gya kulya mu nsi yaabwe olukwe Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti mu bano kwekuli katikkiro w’obusinga bwa Rwenzururu ne ba minisita  abalala babiri N’ayogerako eri bannamawulire, Enanga agambye nti abantu bano bonna bagenda kuvunaanibwa mu […]

Ababaka abaagobwa mu NRM baluyiseeko

Ali Mivule

July 10th, 2014

No comments

Kkooti ensukkulumu ekkirizza ababaka abana abaagobwa mu kibiina kya NRM  okusigala mu palamenti. Kkooti eno esazizzaamu ekiragiro kya kkooti etaputa ssemateeka okubagoba nga kati balina kulinda musango gukolebweeko gwonna. Okusalawo kuno kukoleddwa abalamuzi 7 nga bakulembeddwamu Wilson Ssekokko nebategeeza nga okusaba kw’ababaka bano bwebakulabyemu eggumba […]

Mukomye okukusa abantu- Janat Museveni

Ali Mivule

July 10th, 2014

No comments

Muko mukulembeze w’eggwanga  Janat Museveni  ayagala amaanyi gongerwe mu kulwanyisa okukukusa abantu okufuuse baana baliwo mu ggwanga. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire olwaleero Mukayala Museveni ategezezza nga ekikolwa kino bwekitali kaybugunjufu nga ate kimeya mateeka. Ono awadde eky’okulabirako eky’abaana abakukusibwa okuva e Karamoja okuletebwa ku nguudo […]

Katikkiro wa Rwenzururu akwatiddwa

Ali Mivule

July 10th, 2014

No comments

  Agava e Kasese gooleka nga  Katikiro w’obusinga bwe’Rwenzululu bwakwatiddwa.   Noah Nzagale y’akwatiddwa ku byekuusa ku bulumbaganyi obwakoleddwa e Kasese obwalese abasoba mu 100 nga bafudde.   Omu ku balangira mu businga  bwe Rwenzululu  christpher Kibanzanga akakasiza kino wabula natawa nsonga evudde  kukwatibwa kwa […]

Oluyimba lw’eggwanga ssirwakukyuuka- Mbabazi

Ali Mivule

July 9th, 2014

No comments

  Oluyimba lw’eggwanga ssirwakukyusibwa Ssabaminista Amama Mbabazi y’akakasizza ababaka mu palamenti ensonga eno bw’ereeteddwa mu palamenti. Kino kikontana n’ebyayogerwa minister akola ku byobulamu Maria Mutagamba agamba nti gavumenti etaddewo obukadde 187 okukola ku kwongera eggono mu luyimba luno. Ensonga eno ereeteddwa omubaka we Bulamogi Kenneth […]

Gavumenti yakunyonyola ku bye Bundibuggyo enkya

Ali Mivule

July 9th, 2014

No comments

Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti bassizza gavumenti ku ninga okunyonyola ku bigenda mu maaso e Bundibuggyo ne Kasese. Abantu abasoba mu kikumi beebakafiira mu bulumbaganyi buno obwakoleddwa nga buva ku njawukana mu mawanga. Omubaka we Kasese omukyala Winnie Kiiza ne minisita akola ku by’okwerinda […]

Ebya Kalungi bizzeemu goozi- Gavumenti ejulidde

Ali Mivule

July 9th, 2014

No comments

Ssabawaabi wa gavumenti assizzaayo okujulira  eky’okuyimbula Adam Sulaiman Kalungi Ssabawaabi awakanya ensalawo y’omulamuzi Lameck Mukasa eyajjako Kalungi emisango gy’okutta omuntu mu butanwa Omulamuzi yagamba nti Kalungi yasingisibwa omusango mu bukyaamu kubanga tewaaliwo bujulizi bwonna bulaga nti yeeyatta omubaka Cerinah Nebanda Ssabawaabi wakwanja ensonga kw’asinziira okuwakanya […]