Amawulire

Abe Bundibuggyo bakuvunaanibwa mu kkooti y’amaggye

Ali Mivule

July 10th, 2014

No comments

Bundibuggyo arrests

Abantu 112 abaakwatibwa  ku bye Bundibuggyo bakuggulwaako misango gya kulya mu nsi yaabwe olukwe

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti mu bano kwekuli katikkiro w’obusinga bwa Rwenzururu ne ba minisita  abalala babiri

N’ayogerako eri bannamawulire, Enanga agambye nti abantu bano bonna bagenda kuvunaanibwa mu kkooti y’amaggye kubanga baabasanga n’emmundu

Katikkiro w’obusinga Noah Nzaghale akwatiddwa nkya ya leero ate ba minisita abalala bakwatibwa ku bbalaza.

Bino bigenze okujja ng’omusinga wa Rwenzururu Wesley Charles Mumbere yakalabula gavumenti ku ky’okukwata abantu be.

Mumbere agambye nti okwnaguyiriza okukwata abantu kyoolese okuleera ebizibu nga nebassalumaanya boolese okugenderamu

Ono ajjukkiza gavumenti nti abakulembeze b’ennono tebabalonda bulonzi wabula bazaalibwa n’ebitiibwa byaabwe.