Amawulire

Abafumbi e Makerere bagenze mu kkooti

Ali Mivule

July 17th, 2014

No comments

Abafumbi mu ttendekero lye Makerere ensonga zaabwe bazitutte mu kooti enkulu mu ggwanga. Bano bagaala kusasulwa obuwumbi bubiri n’ekitundu olw’okubagoba ku mirimu okwawukanako ku ndagaano yaabwe ky’egamba. Ekibinja ky’abakozi bano abawerera ddala 129 era kiwakanya eky’okubajja mu kiyungu batwalibwe mu bitongole ebirala nga bagamba nti […]

Ebya NAADS bikyaali matankane

Ali Mivule

July 17th, 2014

No comments

Gavumenti esazeewo okukyuusa enteekateeka ya NAADS okussibwa mu minisitule ekola ku byobulimi. Enteekateeka eno ebadde yetongodde era nga yetwaala mu buli kimu Minisita w’obulimu Tress Bucyanayandi agamba nti gano geegamu ku makubo gebakutte okubbulula enteekateeka eno obutafa ttoge Bucyanayandi era atangazizza era amaggye tegajja kuyingira […]

Aba Bodaboda bawakanyizza emisolo gya KCCA

Ali Mivule

July 17th, 2014

No comments

Abamu ku bagoba ba boda boda mu Kampala baweze okusimbira ekkuuli omusolo omujja KCCA gyetegeka okubasolozamu. Mumusolo oguletebwa KCCA abagoba ba Boda Boda bakusasula emitwalo 25000 buli mwezi eri KCCA eza sticker. Abamu ku bagoba ba boda boda bagamba nti ensmbi zino yingi nyo ate […]

Gavumenti yefudde ku luyimba lw’eggwanga

Ali Mivule

July 17th, 2014

No comments

Minisita akola ku by’obulambuzi mu ggwanga Maria Mutagamba yefudde ku nsonga z’okukyuusa mu luyimba lw’eggwanga Omwezi oguwedde Mutagamba yalangirira enteekateeka z’okukyusa oluyimba luno okussaamu kyeyayita ebinnonnoggo kyokka nga bangi bakiwakanya Mutagamba ng’ayogerako eri bannamawulire , agambye nti kati bakutunuulira ngeri yakwagazisaamu abantu oluyimba luno.

Bannayuganda abali e China tetulina kyakubakolera- Gavumenti

Ali Mivule

July 17th, 2014

No comments

Essuubi ly’okutaasa bannayuganda abasalirwa akalabba mu ggwanga lya China lizze lisebengerera Minisita wa mateeka Kahinda Otafire agambye nti tebalina kyakukola ku mbeera eno. Ono agamba nti bakyayogereza gavumenti ya China ku kuzza abantu bano ku butaka babonerezebwe wano kyokka nga tekibadde kyangu era eby’okubajjako emisango […]

Omubaka gwebaakubye akaabye amaziga

Ali Mivule

July 17th, 2014

No comments

Omubaka omukyala owe Kibaale Robinah Nabbanja akulukusizza amaziga ng’ategeeza babaka banne byeyayitamu abeekalakaasi bwebamukubye engumi Nabbanja yakubwa bweyali akkakkanya abasuubuzi b’ebirime abaali beekalakaasa e Kibaale Omubaka ono olwaleero ayitiddemu palamenti byeyayitamu wakati mu maziga n’asaba abamukuba babonerezebwe Omubaka wabula ekisinze okumuluma nti bamukuba poliisi etunula […]

Abba ez’obugaali bakaligiddwa

Ali Mivule

July 17th, 2014

No comments

Eyali omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule ekola ku gavumenti ez’ebitundu John Kashaka  asibiddwa emyaka 10 n’ennaku 10. Ogumuvunaanibwa kwezibika nsimbi za kugula bugaali bumaanyi ga kifuba obwaali obwa ssentebe b’ebyaalo. Omulamuzi Catherine Mpagi Bamugemereirwe agambye nti Kashaka era tajja kuddamu kuweebwa mulimu mu gavumenti Kashaka alangiddwa […]

Akulira Uganda management institute avunaaniddwa

Ali Mivule

July 17th, 2014

No comments

Akulira ettendekero lya Uganda Management Institute Deo Lukoji Bbosa aguddwako emisango gy’okufiiriza ettendekero lino obukadde obusoba mu 200 , bweyekobaan nebane okubulankanya ensimbi z’esomero Getufunye goole nga ono okukwatibwa bweyewadeyo yekka mu mikono gya police Kigambibwa nti ababiri bano beewa ssente z’okugula emmotoka, ne ssente […]

Essomero eryakutte omuliro liggaddwa

Ali Mivule

July 17th, 2014

No comments

Agava e mbale gooleka nga  essomero elyaakute omuliro abaana basatu nebafiirawmu  bwerigadwa. Abakulira essomero lino elya Mbale comprehensive ss  nga bali wamu ne poliisi ,basazewo baligale wiiki namba nga n’okunonyereza bwekukyagenda maaso ku kiki ekyaviiriddeko omuliro guno saako n’okwongera okubudabuda abayizi abaafunye ensisi Olunaku olw’eggulo […]

Amateeka amapya mu kibuga- okuwanda musango

Ali Mivule

July 16th, 2014

No comments

Kampala capital city authority evuddeyo n’amateeka amakakali kyokka nga gano galiko n’emisolo eri abanagamenya. Okukuba engombe wekitetaagisa kati osasula emitwalo 3 ate okusimba awantu emmotoka n’olwaawo nga tolina ky’okola era osasula emitwalo 3. Okuwanda mu kibuga osasula emitwalo 3 , okufuuwa sigala mu kifo webatamunyweera […]