Amawulire

Amateeka amapya mu kibuga- okuwanda musango

Ali Mivule

July 16th, 2014

No comments

Lukwgao sad

Kampala capital city authority evuddeyo n’amateeka amakakali kyokka nga gano galiko n’emisolo eri abanagamenya.

Okukuba engombe wekitetaagisa kati osasula emitwalo 3 ate okusimba awantu emmotoka n’olwaawo nga tolina ky’okola era osasula emitwalo 3.

Okuwanda mu kibuga osasula emitwalo 3 , okufuuwa sigala mu kifo webatamunyweera nakyo kya mitwalo esatu ate okutikkira ebweru wa paaka omuntu asasula emitwalo 10.

Aba bodaboda bakuwa sitiika za mitwalo ebiri kitundu ate okusimba ku nguudo mu kibuga bwongezeddwaamu ebitundu ataano ku kikumi

Emiwendo gino gisomoddwa loodimeeya Erias Lukwago agamba nti n’ensimbi ezijjibwa ku b’obutale nazo zongezeddwa nga kati bul;I atunda enkoko mu kibuga asasula shs 900 ku buli nkoko gy’atunda

Luli bano babadde basasula shs 300

Abalangira ku bipande mu kibuga nabo bakuwa eziwera n’abalinamu ebizimbe

Lukwago agambye nti bawakanya emisolo gino kubanga tegiteesebwangako era nga asabye palamenti egigobe

Lukwago agamba nti bamaze okwemulugunya eri sipiika Rebecca Kadaga

Yye meeya we Kawempe Mubarak Munyagwa agamba nti tebajja kukkiriza misolo gino.

Ensonga eno era tugitutteko ne mu bantu ba bulijjo nebatuwa endowooza zaabwe nga abamu babyanirizza ate abalala tebaagala kubiwuliza

Abantu abasinga bagamba nti wandisoose kubaawo kusomesa bantu ku nteekateeka zino

Yyo nno KCCA egamba nti bino bikyaali biteeso ebitunuuliddwa okuleeta ssente