Amawulire

Atendeka Brazil alekulidde

Ali Mivule

July 14th, 2014

No comments

Omutendesi wa tiimu ya Brazil ey’omupiira Luiz Felipe Scolari alekulidde. Scolari nga aweza egy’obukulu 65, yayambakao Brazil okuwangula ekikopo ky’ensi yonna mu 2002 wabula kuluno byagaanye. Brazil yatimpulwa Germany ggoolo 7-1 saako 3-1 nga balwanirira ekyokusatu n’eggwanga lya Netherlands.  

Abaana abaawambiddwa baakudda e’waka

Ali Mivule

July 14th, 2014

No comments

Poliisi yakuddinganya abaana abaabadde bawambiddwa e Luweero n’abenganda zaabwe. Olunaku olw’eggulo poliisi mu disitulikiti ye Luweero nga ekolagana n’eya Jinja baliko abantu 4 abeeyita abayisiraamu bebaakutte nga bakukusa abaana 71 okubatwala e Bugembe okusomesebwa eddiini. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino  Lameck kigozi agamba  bano […]

Abayizi B’E Makerere Bazzemu Okwekalakaasa

Ali Mivule

July 14th, 2014

No comments

Poliisi n’abayizi b’eMakerere bali balwanaganye  oluvanyuma lw’abayizi okugezaako okuggalawo ettendekero nga bawakanya eky’okwongezebwa kw’ebisale eri abayizi  abapya n’ebitundu 10%. Bano bakulembeddwamu abakulira Ivan Bwowe nga era ssibamativu olw’abasomesa baabwe okulemelerwa  okubalambula  gyebatendekebwa mu makampuni agenjawulo ku Internship. Bano bagamba nti baasasula emitwalo 60 buli omu  […]

Bataano bafudde Waragi

Ali Mivule

July 11th, 2014

No comments

Abantu abasoba mu 5 bafudde mu ggwanga lya Kenya oluvanyuma lw’okwekatankira waragi alimu obutwa. Bino bibadde mu ssaza lye  Nandi. Abantu abalala 19 bawereddwa ebitanda ng’ebeera mbi nyo ddala. Abafudde kuliko omutaka , omusawo wamu n’omusomesa omu, kyokka nga kiteberebwa okuba ng’omwenge guno gwavudde mu […]

Poliisi yegaanye okukwata Mumbere- Besigye ayogedde

Ali Mivule

July 11th, 2014

No comments

  Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye avuddemu omwaasi ku butabanguko obuli mu disitulikiti ye Bundibuggyo ne Kasese. Agamba nti obuzibu bwonna buvudde kukuyingiza byabufuzi mu bitundu n’okwagaala okukutula mu mawanga. Ng’ayogerako eri bannamawulire ,Besigye agambye nti ekitundu kye Rwenzori kirimu entalo nyingi […]

Maama n’abaana amasanyalaze gabasse

Ali Mivule

July 11th, 2014

No comments

  Maama n’abaana be 2 bakubiddwa amasanyalaze agabatiddewo. Omutawaana guno gugudde ku kyalo  Bumutale mu disitulikiti ye  Sironko nga era abatuuze beebagudde ku  emirambo gyaabwe nga bakulu ba jjo. Bano  amasanyalaze gabakubye oluvanyuma lw’okukoona ku ssengenge abadde akozesebwa okubbirira amasanyalaze nga bagayisa mu muti. Omu […]

Gyiweze Emyaka 4 Bukyanga Bomu Zitta Bannakampala

Ali Mivule

July 11th, 2014

No comments

Olunaku olwaleero gyiweze   emyaka 4 bukyanga  batujju ba Al-shabab batega bomu wali ku Kyaddondo Rugby Grounds ne Ethiopian Village e Kabalagala ne batta abawagizi b’omupiira abasoba mu 70.Bano baali balaba fayinolo y’ekikopo kyensi yonna wakati w’eggwanga lya Netherlands ne Spain.   Kuluno poliisi eyongedde okulabula […]

Gavumenti efulumizza ekiwandiiko ku Bundibuggyo- lyandiba eddogo

Ali Mivule

July 10th, 2014

No comments

Gavumenti kyaddaaki efulumizza ekiwandiiko ku bulumbaganyi obwabadde e Bundibuggyo , Kasese ne Ntoroko nga buno bwalese abantu abasoba mu 100 nga bafu. Ng’asoma ekiwandiiko kya gavumenti mu palamenti, minisita w’eby’okwerinda, Dr Crispus Kiyonga agambye nti tebannakakasa kituufu kyavuddeko bulumbaganyi buno kyokka nga bakola kyonna ekisoboka […]

Lwakataka akwatiddwa

Ali Mivule

July 10th, 2014

No comments

Omuvuzi w’emmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka akwatiddwa. Lwakataka bamukwatidde ku Industrial areamu kampala  olw’eggulo lwa leero. Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti Lwakataka agenda kuggulwaako misango gyakulumya bantu n’okwetaba mu kusuubula obwenyanja obuto. Wakuvunaanibwa mu kkooti ye Kasese gyeyaddiza emisango gino

Omulambo gubbiddwa mu ntaana

Ali Mivule

July 10th, 2014

No comments

Poliisi e Mityana etandise okunonyereza ku ngeri omulambo gyegwabuzeemu okuva mu ntaana Bino bibadde ku kyaalo Mubango Mityana ng’eno gyebaziika omukyala kyokka bagenze okukebera mu ntaana nga tabangamu. Aduumira poliisi ye Mityana Henry Kintu agamba nti bakakasizza nti omulambo teguliimu kyokka nga nabo basobeddwa eka […]