Amawulire

Ab’embizzi bazzeemu okukwatibwa

Ali Mivule

July 9th, 2014

No comments

Abavubuka abakwaatibwa n’embizzi ku palamenti bazzeemu okukwatibwa Norman Tumuhimbise ne Robert Mayanja bakwatiddwa boogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina kya FDC mu kampala. Akulira abavubuka mu FDC Francis Mwijuikye agamba nti ababiri bano babadde banyonyola bannamawulire lwaki baalumba palamenti Wabula omwogezi wa poliisi kampala nemiriraano […]

Ba nansi basenguddwa

Ali Mivule

July 9th, 2014

No comments

Poliisi esengudde ba nansi okuva mu mayumba gaabwe mu ddwaliro e Mulago. Kiddiridde abasawo bano okugaana okuva mu mayumba gano , abasoma obusawo basobole okugasulamu Olunaku lwajjo, abasawo bano baddukidde mu palamenti nga bagamba nti abaddukanya eddwaliro bagaala kubagoba ate nga tebalina gyebadda Wabula yye […]

Emyaka ena abateega bbomu tebabonerezebwanga

Ali Mivule

July 9th, 2014

No comments

Nga giwera emyaka 4 wiiki eno bukyanga bbomu zitta abantu wano mu kampala, n’okutusa kati abakosebwa n’abafiirwa abaabwe tebanafuna  bwenkanya mu mbuga z’amateeka. Abantu abasoba mu 70 bafiira mu bulumbaganyi buno ku Kyadondo rugby grounds ne  Ethiopian village wano e Kabalagala abatujju ba Al-Shabab bwebatega […]

Okusunsula mu bakwatiddwa e Bundibuggyo kuwedde

Ali Mivule

July 9th, 2014

No comments

Amaggye gamalirizza okusunsula abakwatiddwa ku by’obulumbaganyi obwakoleddwa mu disitulikiti okuli  Bundibugyo, Kasese ne Ntoroko obwalese nga abasoba mu 100 nga batiddwa. Omwogezi w’ekibinja ky’amagye ekyokubiri Maj. Ronald Kakurungu agamba kati basigazza abakwate 65 kwabo 84 abakwatiddwa e Bundibugyo ne Ntoroko nga era baasobodde n’okuzuula emmundu […]

Omu afiiridde mu Kabenje

Ali Mivule

July 9th, 2014

No comments

Omuntu omu yafiiridde mu kabenje akaagudde wali e Lukaya mu kiro ekikeesezza olunaku olwaleero. Okusinziira ku poliisi, akabenje kano kavudde ku baasi ya Global Coach okutomeragana bwenyi ne loole  ebadde eva e Kampala ng’edda Mbarara. Adumira poliisi ye Kalungu   Martin  okoya agamba omukyala yafiiriddewo sso […]

Bbomu mu Tanzania asse munaana

Ali Mivule

July 8th, 2014

No comments

Abantu munaana beebalumiziddwa mu bbomu etegeddwa mu kirabo ky’emmere mu kibuga Arusha Tanzania. Poliisi egambye nti abateze bbomu eno baagikasuse okuyita mu ddirisa . Ekirabo kino kisinga kubaamu bagwiira era nga abasinga babeera balambuzi Ssabbiiti ewedde bbomue ndala yakasukibwa mu nju y’omu ku bayisiraamu abamaanyi […]

Gavumenti tennapowa ku China

Ali Mivule

July 8th, 2014

No comments

Minisita akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Sam Kuteesa agamba nti gavumenti ekyayogereza ginaayo eye China okukomyaawo bannayuganda abali ku kalabba e China. Ng’ayogerako eri bannawulire, Kuteesa agambye nti tebakkiririza mu kukus anjaga kyokka nga tebakkiririza mu ngeri bannayuganda gyebavunaanibwaamu. Kuteesa agamba nti kyebaagala kwekulaba nti […]

Ettofaali- ezisoba mu bukadde 200 zeezisondebwa

Ali Mivule

July 8th, 2014

No comments

Ensimbi ezisoba mu bukadde 200 zeezakasondebwa Katikiro mu division ye Rubaga mu nkola ey’okusonda ettafaali. Katikiro wa Buganda atalaze ebitundu ebiwerako omuli ekitebe kya division ye Rubaga, abasubuzi b’embaawo e Kibuye, Bamakanika, ekitebe  kya FDC e Najjanankubi wamu n’ebifo ebirala. Kitikiro asinzidde wano n’asaba abavuvuka […]

Abantu batandise okudduka e Bundibuggyo

Ali Mivule

July 8th, 2014

No comments

Ebikumi n’ebikumi by’abantu batandise okudduka e Bundibuggyo nga beesega ekibambulira. Abasinze okusenguka be ba Bamba ababeera mu nsozi ze Lwengo. Abantu bano kati bakungaanidde mu nkambi emanyiddwa nga Bukwanga ng’eno yesudde kilomita nga 7 okuva mu kibuga kye Bundibuggyo. Wabula ggo amaggye gagamba nti tegannategeera […]

Enkyukakyuuka mu kitongole ekiramuzi

Ali Mivule

July 8th, 2014

No comments

Essiga eddamuzi likoze enkyukakyuka mu balamuzi ba kkooti ento n’abawandiisi. Abawerera ddala 27 beebakyusiddwa Okusinziira ku amyuka omwogezi w’essiga eddamuzi Araali Muhiirwe, enkyukakyuka zino zikoleddwa omuwandiisi wa Kkooti ow’okuntikko  Paul Gadenya okwongera okutambuza bulungi emirimu. Gadenya awadde bonna abakyusiddwa amagezi okwanguya ku mirimu gyebabadde bakyakolako […]