Amawulire

Maama Fiina bamutankana

Ali Mivule

July 16th, 2014

No comments

Akulira abasawo b’ekinnansi Sylvia Namutebi ng’ono amanyiddwa nnyo nga maama fiina alebuukana na gwakweyita na ky’atali. Waliwo ekibinja ky’abasawo b’ekinansi nga kiri wansi wa Uganda Neddagala Lyayo ekigenz mu palamenti nga kyesamba maama fina era nebawakanya n’ebirowoozo byeyawaayo ku kusaddaaka n’okuwamba abaana. Bano bakulembeddwaamu Margaret […]

Abasomesa batabukidde KCCA

Ali Mivule

July 16th, 2014

No comments

Abasomesa abakolera mu masomero agaddukanyizibwa KCCA bongedde okutabuka nga bataddewo nsalessale wa nnaku 3 okufuna omusaala ssinga bigaana bakussa wansi ennoni. Kino bakituseeko mu lukiiko lwebatuddemu n’abakulu mu KCCA olunaku lwaleero Abasomesa bano obutawukanako na basawo bagamba nti tebannafuna misaala kati emyezi esatu ate nga […]

Abatunda emichomo bawereddwa e Kakiri

Ali Mivule

July 16th, 2014

No comments

Abatunda emichomo ku makubo nebiribwa ebirala babayimiriza mu kibuga kye Kakiri okumala ebbanga eritali ggere. Kino kikoleddwa okulaba nti bonna bazooka kuwandiisibwa n’okwekebejjebwa okulaba nti tebafuuka ate ba bulabe eri abantu beebaguza ebintu byaabwe. Akulembedde ekibinja kyabasawo okuyimiriza abantu bano, Emmanuel Batemyetto agambye nti kibadde […]

Siriimu ali mu bavubi avuluuja

Ali Mivule

July 16th, 2014

No comments

Alipoota efulumiziddwa eraga nti ku buli bavubi ekkumi b’osanga , bana ku bbo babeera n’obulwadde bwa Mukenenya. Okunonyereza kuno kukoleddwa ekibiina kya International Organization for Migration, nga kituuse mu disitulikiti mukaaga okuli Apac, Wakiso, Kasese, ne Masaka. Bangi kyeyolese nti abavubi bano bakimanyi nti siriimu […]

Akeedimo k’abasawo kayingidde olunaku lw’okubiri

Ali Mivule

July 16th, 2014

No comments

Akeediimo k’abasawo mu malwaliro ga KCCA kayingidde olunaku olwokubiri nga era abalwadde bakyakonkomadde awatali basawo babajanjaba. Kanaluzaana, misaala kulwayo Wano ku ddwaliro lya Kisenyi abasawo batudde ku bifuji balasa luboozi awatali kufa ku balwadde abasinda era nga bwekyabadde olunaku olw’eggulo abakyala b’embuto bebasinze okubonabona. E […]

Malaaya yezoobye n’owa Bodaboda

Ali Mivule

July 16th, 2014

No comments

Wabaddewo katemba wano ku luguudo lwa industrial area abagoba ba bodaboda bwebatabukidde omukazi agambibwa okubba essimu yamunaabwe oluvanyuma lw’okumutwala mu loogi besanyusemu. Rashid Tumuhebwa y’atabukidde omukazi ono atategerekese manya ng’amulumiriza okubba essimu ye bweyabadde agenze okunaaba. Omukazi abadde tasiba zikweya yerwanyeeko okukkakana nga engoye z’omusajja […]

Ogwe Bundibuggyo guddamu leero

Ali Mivule

July 16th, 2014

No comments

Okuwulira omusango gwabo abavunanibwa okulumba ekitundu kye Rwenzori nebatta abawerako kuddamu leero maaso ga ssentebe wa kkooti y’amaggye Maj Gen Levy Karuhanga. Olunaku olweggulo abantu 132 beebaleteddwa mu kkooti wabula olw’obudde obutamala, 125 bokka bebalabiseeko maaso ga Kkooti y’amagye wabula nga mpaawo musango gwonna gwabasomeddwa. […]

Abayizi basatu bafiiridde mu muliro

Ali Mivule

July 16th, 2014

No comments

Abayizi basatu ku ssomero lya comprehensive high school e Mbale bafiiridde mu muliro ogukutte ekisulo ky’abayizi. Abayizi bano babadde basigadde mu kisulo nga balwadde. Abafudde kuliko aba siniya esooka  babiri n’omulala wa siniya y’okubiri. Omwogezi wa poliisi mu buvanjuba bw’eggwanga Diana Nandawula agamba nti ekivuddeko […]

Omubaka akubiddwa emiggo

Ali Mivule

July 15th, 2014

No comments

E Kibaale  abasuubuzi b’ebirime bakakkanye ku mubaka omukyala akiikirira disitulikiti   eno Robinah Nabbanja  nebamukuba nga ekyokutale nga bano babadde bekalakaasa lwa misolo Agavaayo gooleka nga police bwekozesezza omukka ogubalagala okutaasa omubaka ono kubasuubuzi ababadde bamuttira mu kabuga ke Kakumiro. Abasuubuzi bano bagamba nti emisolo gyino […]

Yisirayiri ezzeemu okulumba Palestina

Ali Mivule

July 15th, 2014

No comments

Yisirayiri ezzeemu buto okukuba emizinga mu kitundu kye Gaza yadde nga yeeyamye nga bw’egenda okukomya ennumba zaayo. Eggwanga lino lyasoose kutegeeza nga bweritagenda kuddamu kulumba palestina gy’erudde ng’esindikikako emizinga ezitiddemu nebassalumanya Aba Hamas nga bano beebalwaana n’aba yisirayiri wabula bavuddeyo nebategeeza nga kuno bwekwabadde okunika […]