Amawulire

Abatunda emichomo bawereddwa e Kakiri

Ali Mivule

July 16th, 2014

No comments

Muchomo

Abatunda emichomo ku makubo nebiribwa ebirala babayimiriza mu kibuga kye Kakiri okumala ebbanga eritali ggere.

Kino kikoleddwa okulaba nti bonna bazooka kuwandiisibwa n’okwekebejjebwa okulaba nti tebafuuka ate ba bulabe eri abantu beebaguza ebintu byaabwe.

Akulembedde ekibinja kyabasawo okuyimiriza abantu bano, Emmanuel Batemyetto agambye nti kibadde kizibunnyo okumanya ani yaani mu kale ng’okwewala ebizibu kuyimiriza bonna babawandiise buto.

Abavubuka nga beebasinga okuba mu mulimu gw’okwokya obunyama kumakubo bagambye nti yaddenga balina okugoberera ebyobulamu naye babakubye omuggo kubanga beetaga ensimbi.

Wabula yye Ssentebe w’egombolola ye Kibuga Kakiri, Mayor Muhamad Kisekka Bantubalamu,nti tekisaanye kweralikiriza bantu bano nga kijja kwongera kutereeza mulimu gwaabwe