Amawulire

Abasomesa batabukidde KCCA

Ali Mivule

July 16th, 2014

No comments

teachers stick their guns

Abasomesa abakolera mu masomero agaddukanyizibwa KCCA bongedde okutabuka nga bataddewo nsalessale wa nnaku 3 okufuna omusaala ssinga bigaana bakussa wansi ennoni.

Kino bakituseeko mu lukiiko lwebatuddemu n’abakulu mu KCCA olunaku lwaleero

Abasomesa bano obutawukanako na basawo bagamba nti tebannafuna misaala kati emyezi esatu ate nga tebalina kunyonyolwa kwonna

Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti bakakafu nti ensonga eno ejja kuba ekoleddwaako mu bbanga eritali lye wala n’asaba abasomesa n’abasawo okusigala nga bakkakkamu.