Amawulire

Maama n’abaana amasanyalaze gabasse

Ali Mivule

July 11th, 2014

No comments

 

bulb

Maama n’abaana be 2 bakubiddwa amasanyalaze agabatiddewo.

Omutawaana guno gugudde ku kyalo  Bumutale mu disitulikiti ye  Sironko nga era abatuuze beebagudde ku  emirambo gyaabwe nga bakulu ba jjo.

Bano  amasanyalaze gabakubye oluvanyuma lw’okukoona ku ssengenge abadde akozesebwa okubbirira amasanyalaze nga bagayisa mu muti.

Omu ku baliraanwa  Sarah Namaganda ategezezza nga omukyala  Anid Nabifo ow’emyaka 37 bweyawuliddwa ng’alajaana oluvanyuma lw’okukubwa  amasanyalaze olwo abaana be bwebagezezaako okumutaasa, nabo negabakuba nebakalirawo.

Okusinziira ku minisita w’ebyamasanyalaze  Irene Muloni abantu ebitundu asatu ku kikumi  mu bitundu by’ensozi za Elgon babbirira amasanyalaze nga bangi balemeddwa okuva ku muze guno oguviiriddeko bangi okufa.