Amawulire

Abba ez’obugaali bakaligiddwa

Ali Mivule

July 17th, 2014

No comments

Kashaka

Eyali omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule ekola ku gavumenti ez’ebitundu John Kashaka  asibiddwa emyaka 10 n’ennaku 10.

Ogumuvunaanibwa kwezibika nsimbi za kugula bugaali bumaanyi ga kifuba obwaali obwa ssentebe b’ebyaalo.

Omulamuzi Catherine Mpagi Bamugemereirwe agambye nti Kashaka era tajja kuddamu kuweebwa mulimu mu gavumenti

Kashaka alangiddwa okuzza

Kashaka ne banne abalala bataano beekobaana nebayisa obuwumbi 4 mu kkampuni emanyiddwa nga Amani ng’eno yali yakatondebwaawo mu nnaku taano zokka.

Omulamuzi agambye nti buno bwaali bukumpanya bwa kitalo kubanga teri kagaali yadde akamu akaguulwa yadde nga baali balina okugula obugaali obuwerera ddala emitwalo musanvu.

Abalala b’ababadde avunaanibwa nabo basibiddwa emyaka 13 n’emyezi 21.

Kuno kwekuli Sam Emurut Erongot, Robert Mwebaze,

Yye eyali yebuuzibwaako mu minisitule eno Timothy Musherure asibiddwa emyezi 40 ng’omulamuzi agambye nti ono muto era nga kiteekwa okuba nga bamubuzabuuza