Amawulire

Bannayuganda abali e China tetulina kyakubakolera- Gavumenti

Ali Mivule

July 17th, 2014

No comments

Otafire

Essuubi ly’okutaasa bannayuganda abasalirwa akalabba mu ggwanga lya China lizze lisebengerera

Minisita wa mateeka Kahinda Otafire agambye nti tebalina kyakukola ku mbeera eno.

Ono agamba nti bakyayogereza gavumenti ya China ku kuzza abantu bano ku butaka babonerezebwe wano kyokka nga tekibadde kyangu era eby’okubajjako emisango bbyo bizibu ddala nandiki okuba nga tebisoboka

Asabye ababaka mu palamenti okufuba okulaba nga basomesa abantu ku kabi akali mu kukusa enjaga kubanga china tesaaga mu kalabba

Bannayuganda babiri beebawanikibwa ku kalabba mu China ate ng’abalala 23 beebakalindiridde.