Amawulire

Eyatomera bba n’amutta bamulumirizza

Ali Mivule

July 10th, 2014

No comments

Nsenga new

Okuwulira omusango gw’ettemu oguvunaanibwa omukyala eyatomera bba n’amutta kutandise

Jacquline Nsenga yatomera bba eyali amuggulira oluggi lw’ekikomera.

Taata w’omugenzi Kananura Nsengaategeezezza kkooti nti mutabani we yalina obutakkaanya n’omukyala ono era ng’omukyala yatuuka n’okugoba Baganda b’omusajja bonna abaali ewaka

Omujulizi omulala abadde Joseph Kananura muganda w’omugenzi ategeezezza nga muganda we bweyamutegeeza nga mukyala we bweyali amwettidde ate mu maka gaabwe mu bugenderevu era nga bino byebigambo byeyasemba okubategeeza nga tannakutuka.

Omusajja ono agambye nti muganda waabwe bamukoona nnyo kubanga teyaliiko na kutu ate nga n’embiriizi ze zaali zibetentuse ekiraga nti eyamukoona yakikozesa omutima gumu era ng’akigenderedde

Okusinziira ku musawo wa poliisi Moses Byaruhanga eyekebejja omulambo gwa Nsenga, omugenzi yali amenyesemenyese amagumba  nga n’okutu okumu kwaali kuvuddeko.

Abajulizi bataano beebakaleetebwa mu kkooti enkulu ng’omusango guno guli mu maaso g’omulamuzi Duncan Gaswaga