Amawulire

Poliisi eyodde ebipande

Ali Mivule

September 22nd, 2014

No comments

Poliisi ezinzeeko woteeri ya Serena n’ewamba ebipande ebibadde bisuuliddwa wabweru nga kuliko ebigambo ebigamba nti enkyukakyuka ejja. Tekinamanyika wa bipande bino gyebivudde era ani abikubye. Aduumira poliisi ya CPS  Henry Kintu agmba okunonyereza kwatandise dda.  

Eyatomera bba n’amutta gumusse mu vvi

Ali Mivule

September 22nd, 2014

No comments

Omukyala eyatomera bba n’amutta asingisiddwa omusango gw’ettemu Omulamuzi  Duncan Gaswaga agambye nti abantu bakozesa ebissi ebitali bimu okumaza banaabwe emmere nga ne kuluno Uwera yakozesa motoka. Omulamuzi Gaswaga era agamba nti ebigambo by’omugenzi Juvenile Nsenga ng’akyaali mu ddwaliro  lya Paragon Hospital nti mukyala we yali […]

Abayizi beediimye

Ali Mivule

September 22nd, 2014

No comments

Abayizi mu ggwanga lya Hongkong bazize okugenda mu bibiina okumala wiiki namba nga bawakanya eky’eggwanga lya China okugaana ennongosereza mu mateeka g’eby’okulonda mu ggwanga klino. Enkumi n’enkumi z’abayizi okwetolola eggwanga lino baweze obutalinya mu kibiina wakati mu kwekalakaasa. Gavumenti ya China yagaaanye okusunsula abaneetaba ku […]

Eyeeyita omukozi mu statehouse akwatiddwa

Ali Mivule

September 22nd, 2014

No comments

Poliisi ye  Lukaya mu disitulikiti ye Kalungu eriko omusajja gwekutte nga yeyita omukozi mu maka g’omukulembeze w’eggwanga. Ismail Ssentamu omutuuze mu Lukya Tawuni Kanso akwatiddwa nga agezaako okukwata abasawo b’ekinanasi obujega okubagyako ensimbi mu lukujjukuju. Ono abadde asuubiza abasawo b’ekinanasi okubawandiisa mu kibiina ekigatta abasawo […]

Abeewayo basonyiyiddwa

Ali Mivule

September 22nd, 2014

No comments

Abantu abasoba mu bitaano  abeewayo oluvanyuma lw’obulumbaganyi obwakolebwa mu bitundu bye Rwenzori baweereddwa ekisonyiwo oluvanyuma lw’emyeezi 3 nga babudabudibwa. Kino kibukuddwa ssenkagale wa poliisi y’eggwanga  Gen Kale Kayihura bwabadde ayogerako eri abavubuka mu disitulikiti ye Kasese. Ebitaani bano beewaayo eri ab’obuyinza nga omu yye yafudde […]

Aba taxi bazzeeyo ewa Kaihura

Ali Mivule

September 20th, 2014

No comments

Abagoba ba Taxi mu kibuga basazeewo okuddayo buto eri ssabapoliisi Gen Kale Kaihura ku nsonga z’emmotoka zaabwe ezaboyebwa Okwemulugunya kwaabwe kuddiridde okuboyebwa kwa taxi eziwera lwabutasasula fayini. SSentebe w’abagoba ba Taxi ne ba kondakita, Mustapaha Mayambala agamba nti batuuka ku ndagaano ne KCCA okubaddiza taxi […]

Babbisa misumaali

Ali Mivule

September 20th, 2014

No comments

Abanyaga abagoba ba bodaboda bongedde okutabuka nga bongedde okunyweeza. Bano kati bakozesa emisumalai emiwanvu okukuba mu mitwe gy’abo beebanyaga Jimmy Mujuzi akolera e Namasuba alozezza ku bukambwe bwa bano bwebamusabye ssente nga tazirina Mujuzi nga mugoba wa bodaboda, bamubazizza nga yakasimba piki ye w’esuula nebamuzingako […]

Temutuntuza Mbabazi

Ali Mivule

September 20th, 2014

No comments

Bana kibiina kya Democratic Party balabudde government okwewala okutulugunya abadde Prime Minister Amama Mbabazi singa nesimbawo ku bwa president mu mwaka gwa 2016. Muna mateeka wa Fred Mukasa Mbidde agambye nti government eyinza okukozesa akakisa kano okusiba ku Mbabazi emisango sango okusobola okumulemesa okwesimbawo mu […]

Amaggye geetaaga buyambi

Ali Mivule

September 20th, 2014

No comments

Amagye ga UPDF agali mu ggwanga lya Central gakyetaaga obuyambi. Okusaba kuno kukoleddwa bana diini abegatira mu kibiina kya  Acholi religious peace initiative, oluvanyuma lwabamu ku bali bawambiddwa abayeekera ba LRA okusisinkana abenganda zabwe. Ssabawandiisi w’ekibiina kino Bishop Baker Ochola agambye nti kikyali kizibu kinene […]

Abawambiddwa mu Turkey bayimbuddwa

Ali Mivule

September 20th, 2014

No comments

Banansi b’eggwanga lya Turkey 49 abali bawambibwa banalukala aba Islamic state mu ggwanga lya Iraq kyadaaki batereddwa. Bano batuuse dda mu ggwanga lya turkey era ngakati bali mu kibuga Ankara. Abantu bano bawambibwa okuva mu kibuga Monsul mu mwezi gw’omukaaga omwaka guno. Banalukala aba Islamic […]