Amawulire

Eyatomera bba n’amutta gumusse mu vvi

Ali Mivule

September 22nd, 2014

No comments

NSenga 3

Omukyala eyatomera bba n’amutta asingisiddwa omusango gw’ettemu

Omulamuzi  Duncan Gaswaga agambye nti abantu bakozesa ebissi ebitali bimu okumaza banaabwe emmere nga ne kuluno Uwera yakozesa motoka.

Omulamuzi Gaswaga era agamba nti ebigambo by’omugenzi Juvenile Nsenga ng’akyaali mu ddwaliro  lya Paragon Hospital nti mukyala we yali amusse bikulu nnyo

Agenze mu maaso n’ategeeza nti eky’omugenzi okugoba mukyala we mu ddwaliro nakyo kiraga balina obutakkaanya

Wabula omulamuzi agambye nti ku nkayaana ku bintu, Uwera asaanye okugenda mu kkooti y’amaka okufuna obwenkanya.

Uwera yatomera bba eyali amuggulira oluggi lwa geeti mu maka gaabwe e Bugoloobi

Bannamateeka okuva ku ludda oluwaabi okubadde Suzan Okalanyi ne Jane Kajuga basabye nti Uwera aweebwe ekibonerezo ekikakali olw’okulemererwa okukuuma bba era taata w’abaana be ate n’atta mutte

Yye munnamateek wa NSenga, Nsubuga Mubiru ategeezezza nga bwebabadde tebannaba kwetegeka era n’asaba obudde nga kati kkooti yakuddamu olunaku lw’enkya nga lw’esuubirwa n’okuwa Uwera ekibonerezo.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *