Amawulire

Eyeeyita omukozi mu statehouse akwatiddwa

Ali Mivule

September 22nd, 2014

No comments

state house

Poliisi ye  Lukaya mu disitulikiti ye Kalungu eriko omusajja gwekutte nga yeyita omukozi mu maka g’omukulembeze w’eggwanga.

Ismail Ssentamu omutuuze mu Lukya Tawuni Kanso akwatiddwa nga agezaako okukwata abasawo b’ekinanasi obujega okubagyako ensimbi mu lukujjukuju.

Ono abadde asuubiza abasawo b’ekinanasi okubawandiisa mu kibiina ekigatta abasawo b’ekinanasi mu ggwanga.

Norah Nakuya nga ye ssentebe w’ekibiina ekigatta abasawo b’ekinanasi mu Kalungu agamba azze afuna okwemulugunya okuva eri abasawo b’atwaala.

Agamba ono abadde abagyako wakati w’emitwalo etaano n’emitwalo ekkumi nga abawa Certificate ez’ebichupuli.

Aduumira poliisi mu kitundu kino  Noah Sserunjoji,agamba bazudde ebintu by’ekisawo ky’ekinansi ebiwerako okuva mu maka g’omufere ono.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *