Amawulire

Abeewayo basonyiyiddwa

Ali Mivule

September 22nd, 2014

No comments

Bundibuggyo suspects appear

Abantu abasoba mu bitaano  abeewayo oluvanyuma lw’obulumbaganyi obwakolebwa mu bitundu bye Rwenzori baweereddwa ekisonyiwo oluvanyuma lw’emyeezi 3 nga babudabudibwa.

Kino kibukuddwa ssenkagale wa poliisi y’eggwanga  Gen Kale Kayihura bwabadde ayogerako eri abavubuka mu disitulikiti ye Kasese.

Ebitaani bano beewaayo eri ab’obuyinza nga omu yye yafudde mu kiseera ky’okubudabudibwa n’abalala 3 abaafuna ebisago mu kulwanagana.

Abantu abasoba mu 100 battibwa mu bulumbaganyi obwakolebwa mu disitulikiti ye Kasese, Ntoroko ne Bundibugyo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *