Amawulire

Eyakubye munnamawulire anonyerezebwaako

Ali Mivule

January 13th, 2015

No comments

Poliisi etandise okunonyereza ku aduumira poliisi ya Old Kampala Jorum Mwesigye eyakkakanye ku bannamawulire n’abakuba  nga awuttula ensolo. Olunaku lw’eggulo ofiisa ono y’asiiwuse empisa n’awuttula munnamawulire wa WBS  Andrew Lwanga n’ayonona ne kamera ye nga  akwata abavubuka abaabadde bekalakaasa olw’ebbula ly’emirimu. Omwogezi wa poliisi mu […]

Namwandu wa Kasiwukira azzeeyo e Luzira

Ali Mivule

January 13th, 2015

No comments

Namwandu wa Eria Ssebunya bangi gwebamanyi nga Kasiiwukira ne banne abalala 3 bongeddwayo ku alimanda E luzira ku by’okuvaako okutta Kasiiwukira. Namwandu  Sarah Nabikolo Sebunya, mugandawe  Sandra Nakungu n’omuserikale wa poliisi  Ashraf Dedeni bebaziddwa ku meere. Bano balabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Makindye […]

Eby’okwerinda binywezeddwa ku nsalo ya South Sudan

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

Poliisi ekwataganye n’ebitongole ebirala okuyiwa basajja baayo ku nsalo ya Uganda ne South Sudan oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti waliwo abayeekera abagaala okutanula olutalo. Kiddiridde omwuendo gw’abantu abadduka mu ggwanga lya South Sudan okweyongera. Akulira ebikwekweto mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi agamba nti bbo kyebagaala kwekukuuma […]

Bafudde butwa obubadde mu mwenge

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

Omuwendo gw’abantu abafudde oluvanyuma lw’okunywa omwenge ogulimu obutwa mu ggwanga lya Mozambique gutuuse ku 69. Omwenge guno okukolebwa okuva mu bulo gwakoleddwa waka era nga kiteberezebwa nti obulo buno bwandiba nga buliko obusagwa bwa goonya. Omu ku bafudde mwana muto eyanywedde ku mwenge guno mu […]

Abe Ankole bagaala bugabe

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

Abalangira n’abambejja mu bugabe bwe Ankole battukizza okusaba nti obukulembeze bwaabwe obw’ennono bukomezebweewo. Bano bakulembeddwaamu katikkiro waabwe Dr. William Katuramu nga bategese emisomo mwebanaayita okusomesa abantu mu Ankole ku bulungi bw’okubeera n’obugabe Ng’ayogerera mu musomo ogusoose , katikkiro agambye nti abantu abatali bamu bakkirizza nti […]

Katikkiro Mayiga agenze mu kkooti ku ttaka

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga addukidde mu kkooti ng’ayagala biragiro ebisengula abantu abesenza ku ttaka lye erisangibwa e Musaale mu Busiro mu disitulikiti ye Wakiso. Katikkiro ayise mu munnamateeka we Denis Jjuuko ng;agamba nti mwetegefu okulaga nti yagula ettaka lino ku bukadde 30. […]

Croatia efunye pulezidenti omukyala asoose

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

Eggwanga lya Croatia lilonze omukulembeze waalyo omukyala asookedde ddala. Kolinda Grabar-Kitarovic y’amezze abadde pulezidenti Ivo Josipovic bw’afunye ebitundu 50.5% . Josipovic akkirizza eky’okuwangulwa era n’akulisa munne n’asuubiza okuwaayo obuyinza amangu ddala nga mukyaala Kitarovic amaze okulayizibwa.  

Omukazi asudde omwana mu nsiko

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

Poliisi ye  Lugusulu mu disitulikiti ye Sembabule eri ku muyiggo gw’omukazi kalittima eyazadde omwana n’amusuula mu nsiko n’afa. omukyaala ono atanategerekeka omwana y’amusawuse mu kasiko akalilanye faamu y’omu ku batuuze  nga eno gyayafiiridde. ssentebe w’ekyaalo  Lukwaasi  Toffa Ssemwanga, agamba ebbujje lino lyasuuliddwa ku faamu ya […]

Byandaala akyagaanye okugenda ku poliisi

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

N’okutuusa kati Minisita w’ebeyenguudo  Abraham Byandala  tanalabikako ku ttabi  lya bambega  e Kireka gy’abadde asuubirwa amakya galeero. Poliisi ku lunaku olwokusatu yafulumya ekibaluwa ki bakuntumye eri minisita ono oluvanyuma lw’okwebulankanya  enfunda bbiri nga talabikako okukunyizibwa ku mivuyo egyetobese mu kuzimba oluguudo lwa  Mukono-Katosi. Ekileppusa minisita […]

Abagambibwa okutta abasiraamu mukaaga bakwate

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

Poliisi yakakwata abantu 6 ku byekuusa ku kuttibwa kw’abakulembeze b’abayisiraamu wano mu ggwanga. Omukaaga bano baakwatiddwa okuva mu bitundu bya kampala ebyenjawulo . Aduumira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga  Andrew Felix Kaweesi ategezezza nga abamu bwebakkirizza nga bwebabadde bawandiisa abantu okwegatta ku bayeekera ba ADF […]