Amawulire

Omukazi asudde omwana mu nsiko

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

Serunjogi

Poliisi ye  Lugusulu mu disitulikiti ye Sembabule eri ku muyiggo gw’omukazi kalittima eyazadde omwana n’amusuula mu nsiko n’afa.

omukyaala ono atanategerekeka omwana y’amusawuse mu kasiko akalilanye faamu y’omu ku batuuze  nga eno gyayafiiridde.

ssentebe w’ekyaalo  Lukwaasi  Toffa Ssemwanga, agamba ebbujje lino lyasuuliddwa ku faamu ya  Merabu Kamategesi nga era abatuuze ababadde batyaaba enku bebagudde ku mulambo nebatemya ku poliisi.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Noah Sserunjoji agamba omulambo gw’omwana gutwaliddwa mu ddwaliro okwongera okwekebejebwa  nga okunonyereza bwekukyagenda mu maaso.

Sserunjoji era alabudde abatuuze okwewala okuzaala abaana bebatasobola kulabirira nga kyekiviiriddeko okubasuula.