Amawulire

Byandaala akyagaanye okugenda ku poliisi

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

Byandala 2

N’okutuusa kati Minisita w’ebeyenguudo  Abraham Byandala  tanalabikako ku ttabi  lya bambega  e Kireka gy’abadde asuubirwa amakya galeero.

Poliisi ku lunaku olwokusatu yafulumya ekibaluwa ki bakuntumye eri minisita ono oluvanyuma lw’okwebulankanya  enfunda bbiri nga talabikako okukunyizibwa ku mivuyo egyetobese mu kuzimba oluguudo lwa  Mukono-Katosi.

Ekileppusa minisita y’ebbaluwa gyagambibwa okuwandiikira ab’ekitongole ky’ebyenguudo nga  14th Dec 2013 nga abalagira okuteeka omukono ku ndagaano na kampuni y’aba kyayina okugenda mu maaso n’okuzimba oluguudo luno.

Wabula bbo abapoliisi abali ku ttabi lino bategezezza nga bwebakyasuubira minister ono.