Amawulire

Bafudde butwa obubadde mu mwenge

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

Mozambique beer

Omuwendo gw’abantu abafudde oluvanyuma lw’okunywa omwenge ogulimu obutwa mu ggwanga lya Mozambique gutuuse ku 69.

Omwenge guno okukolebwa okuva mu bulo gwakoleddwa waka era nga kiteberezebwa nti obulo buno bwandiba nga buliko obusagwa bwa goonya.

Omu ku bafudde mwana muto eyanywedde ku mwenge guno mu bubba ku mukolo kwegwagabuddwa

Abakungu mu ggwanga lya Mozambique bagamba nti abantu abalala 39 bali ku bitanda

Ennaku ssatu zirangiriddwa okukungubagira abagenzi