Amawulire

Poliisi yezoobye n’abavubuka

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

  Poliisi eriko ekibinja ky’abavubuka ky’egumbuludde nga babadde boolekera ku kitebe kya poliisi e Naguru n’ekiwandiiko ekisaba olukusa okukuba enkungaana mu kibuga Kampala wakati. Bano poliisi ebasaliddeko wali e Bakuli nga era mu kavuvungano kano munnamawawulire wa WBS Andrew Lwanga akubiddwa abaserikale nga ne kamera […]

Katumwa alumiriza mukyala lwe

Ali Mivule

January 9th, 2015

No comments

Poliisi olwaleero eyazizza amaka g’omugagga David Katumwa avunaanibwa ogw’okutunuza omwana w’emyaka 16 mu mbuga za sitaani. Katumwa yakwatiddwa olunaku lwajjo okuva mu maka ge e Luwafu n’aggalira ku poliisi ye Katwe Mu sitatimenti gy’akoze ku poliisi olwaleero, Katumwa agambye nti bino byonna bikolebwa eyali mukyala […]

Kyetume Katosi- Kaliisoliiso awangudde olutalo olusooka

Ali Mivule

January 9th, 2015

No comments

Kkooti enkulu e Nakawa ekkirizza kaliisoliiso wa gavumenti okuyingira mu musango ogwawaabwe aba china abaali balina okukola oluguudo lwe Kyetume Katosi okutuuka e Nyenga Mu musango guno, kkampuni y’aba China eya CICO yaddukira mu kkooti ng’ewakanya ekya kaliisoliiso okusazaamu kontulakita yaabwe okukola oluguudo luno. Kkampuni […]

KCCA yeddizza paaka- aba taxi bawanda muliro

Ali Mivule

January 9th, 2015

No comments

Abagoba ba Taxi mu Kampala baweze okusimbira ekkulu ekiragiro kya Government, okuwa KCCA ne Poliisi olukusa okudukanya paaka zona eziri mu mateeka mu kibuga. Olunaku lwalero minister w’ebutebenkevu mu ggwanga Muruli Mukasa alangiridde nga KCCA ne Poliisi bwebawereddwa obuyinza okuddukanya paaka zona, oluvanyuma lw’okusika omuguwa […]

Aba NRM Baanirizza abaalondeddwa

Ali Mivule

January 9th, 2015

No comments

Abakulembeze ba NRM abajja ku kakiiko ak’okuntikko mu kibiina basuubizza okuwereeza ekibiina n’omutima gumu Bano balondeddwa olunaku lwajjo nga kati akakiiko kano kaliko abantu 28 Omu ku balondeddwa Alera Hudah agamba nti ekisinga kwebagenda okussa essira kwekwegatta. Bbo ababaka ba NRM bagumu nti olukiiko olwalondeddwa […]

Gavumenti tekoze kimala ku basiraamu- Bakulembeze

Ali Mivule

January 9th, 2015

No comments

Gavumenti esabiddwa okuyingira mu nsonga za ba maseeka ababuuzibwaawo abantu abatannaba kutegerekeka negyebuli kati. Ng’ayogerera mu kusaala Juma, akulira omuzikiti gwe Nakasero Yunus Kamoga agambye nti gavumenti tekoze kimala kukuuma bakulembeze b’abasiraamu ate ng’ekimanyi nti waliwo entalo. Ono agamba nti abo abakwatiddwa kirungi nebatwalibwa mu […]

Omugagga Katumwa akwatiddwa

Ali Mivule

January 8th, 2015

No comments

Naggagga David Katumwa akwatiddwa Ono ekimukwasizza kusobya ku mwana atannaba kwetuuka Katumwa asangiddwa lubona mu loogi n’akaana kano e Zana. Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti katumwa kati akuumibwa ku poliisi e Katwe.

Abakozesa paasipoota ezitali zaabwe babaano

Ali Mivule

January 8th, 2015

No comments

Ekitongole ekikola ku bayingira n’okufuluma eggwanga kirabudde abantu ku ngeri gyebakuumamu paasipoota zaabwe Kiddiridde okukwatibwa kw’abantu basatu abagambibwa okuba nga bajingirira ebifananyi ku paasipoota z’abalala nebassaako ebyaabwe olwo nebabbirako abantu Ng’ayogerako eri bannamawulire , omwogezi w’ekitongole kino Jacob Siminyi agambye nti bano bagenda kuggulwaako misango […]

Mbabazi afunye ekkonde, abavubuka batabuse

Ali Mivule

January 8th, 2015

No comments

Kkooti egobye okusaba okwakoleddwa Benjamin Alipanga ng’ono awakanya eky’okulondebwa kw’abakulembeze ba NRM abajja okuli ne ssabawandiisi. Omulamuzi Steven Kavuma agambye nti eyawaabye talaze butya bw’ajja kukosebwa ssinga abakulu abalondebwa balayizibwa Wabula omulamuzi yoomu agambye nti ensonga ezawebwaayo Alipanga zirimu eggumba era n’ategeeza nti zakuwulirwa mu […]

Okukusa abantu- bangi babalimba

Ali Mivule

January 8th, 2015

No comments

Abantu 125 beebakukusibwa wano munda mu ggwanga,sso nga 170 baatwalibwa ebusukka nsalo mu mawanga amalala. Bino bifulumidde mu alipoota ekwata ku kukukusa abantu ey’omwaka oguwedde eraze nga abakukusibwa bwebaakendeera okuva ku 700 bwebaali mu 2013 nebadda ku 293 omwaka oguwedde. Alipoota eno era elaze nga […]