Amawulire

Namwandu wa Kasiwukira azzeeyo e Luzira

Ali Mivule

January 13th, 2015

No comments

kasiwukira widow

Namwandu wa Eria Ssebunya bangi gwebamanyi nga Kasiiwukira ne banne abalala 3 bongeddwayo ku alimanda E luzira ku by’okuvaako okutta Kasiiwukira.

Namwandu  Sarah Nabikolo Sebunya, mugandawe  Sandra Nakungu n’omuserikale wa poliisi  Ashraf Dedeni bebaziddwa ku meere.

Bano balabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Makindye Richard Mafaabi abazizza ku alimanda bw’ategezezza nga okunoyereza ku musango gwabwe bwekutanaggwa.

Wabula munnamateeka w’abavunaanwa  Macdusman Kabega y’enyamidde olw’oludda oluwaabi okulwawo okuwaayo fayilo y’omusango guno omusango gutandike okuwulirwa.

Kino era kiwalirizza omulamuzi okulagira munnamateeka wa gavumenti Happiness Ainebyona okujja ne fayilo eno nga bakomawo mu kkooti nga 29 omwezi guno.

Oludda oluwaabi nga luklembeddwamu  lulumiriza abasatu bano nti nga  October 17th 2014 wali e Muyenga, baavako okutibwa kwa kasiwukira bweytomerwa nga akola duyiro.