Amawulire

Cranes etandise na maanyi mu za Africa

Ali Mivule

June 12th, 2017

No comments

Bya Ali Mivule Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira the Cranes etandise nabuwanguzi mu kusunsulamu abanetaba mu za Africa ezigenda okubeera e Cameroon mu 2019. Yadde nga baatataganyiziddwa mu byentambula okutuuka e Cape Verde, Cranes yalumye n’ogwengulu okukuba banyinimu aba CapeVerde 1-0. Muyizi tasubwa wa KCCA FC  Geofrey […]

Atuze omwana gweyakazaala

Ali Mivule

June 12th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Poliisi ye Nabweru eriko omukazi gw’ekutte lwakuzaala mwana n’amutuka era n’amuziika. Florence Nannono owemyaka 23, nga mutuuze we Nabweru -South y’akwatiddwa oluvanyuma lwa kitaawe  omuto,Yasin Kasali okwekubira enduulu ku poliisi y’e Nabweru ng’ayagala enoonyereze muwalawe gye yatadde omwana gwe yazadde. Kasali agamba […]

Disitulikiti zakuweebwa ebirima enguudo

Ali Mivule

June 12th, 2017

No comments

Minisitule y’ebyenguudo olwaleero lwetandika okugabanya ebyuma ebirima enguudo   mu disitulikiti ez’enjawulo. Disitulikiti 35 zezigenda okusooka okuganyulwa mu nteekateeka eno naddala mu massekati g’eggwanga. Buli disitulikiti egenda kufuna ekimotoka ekisenda ettaka 1, ekittika ettaka 1 , ekiggumiza ettaka 1 . Twogeddeko ne ssentebe wa disitulikiti ye […]

Ab’engeye n’embogo bebaggulawo ez’ebika

Ali Mivule

June 8th, 2017

No comments

Bya Ali Mivule Bazzukulu ba Kayiira ab’eddira e Mbogo wamu n’aba Kasujja ab’engeye bebagenda kuggulawo emipiira gy’ebika bya Baganda egy’omwaka guno. Ssabasajja Kabaka wa Buganda  Ronald Muwenda Mutebi  y’asiimye okuggulawo empaka zino nga 8 July 2017. Enteekateeka eno efulumiziddwa  wali e Bulange Mengo . Ab’e […]

Ssewanyana awawabidde Magogo mu FIFA

Ali Mivule

June 8th, 2017

No comments

Bya Ali Mivule Omubaka wa Makindye West mu palamenti  Allan  Ssewanyana awawabidde akulira omupiira Moses Magogo mu kibiina ekiddukanya omupiira mu nsi yonna ekya FIFA nti yabulankanya tiketi z’ekikopo ky’ensi yonna ekya 2014. Ssewanyana agamba tiketi zino zaali ziweereddwa bannayuganda mbu Magogo n’aziguza abantu abalala. […]

Embalirira yaleero

Ali Mivule

June 8th, 2017

No comments

  Olwaleero eggwanga lyonna lirinze minisita w’ebyensimbi Matia Kasaijja okusoma embalirira mulindwa ey’omwaka gw’ebyensimbi 2017/2018 nga era yabutabalika 29 bwebuwumbi emitwalo 29000. Gavumenti esuubira okukunganya obutabalika 15 ku nsimbi zino by’ebitundu nga 48% okuva mu misolo gyakuno. Ensimbi 30% zakusaasanyizibwa ku byakuzimba nguudo, sso nga […]

Abe Wakiso batabuse ku kirwadde kya kalusu

Ali Mivule

June 7th, 2017

No comments

Bya Ali Mivule Oluvanyuma lw’okulangirira Quarantine mu bitundu bye Nηoma n’emiriraano, Katikamu ne Nakasongola bana Wakiso balabuddwa obutesiga nsolo yonna eretebwa mu kitundu okugyako nga tebasoose kugyekebejja. Ngayogera ku ntekateka ey’okulwanyisa ebirwade ebyalumbye ensolo mu bitundu bya Luweero, Nakaseke ne Kiboga, akulira ebyobulunzi, obulimi n’obutale […]

Bakansala batiisizza okujja obwesige mu meeya

Ali Mivule

June 7th, 2017

No comments

Bya Ali Mivule Meeya w Nakawa Ronald Balimwezo Nsubuga atiisizza okwanika ba kansala abamuiisatiisa okumugyamu obwesige ku nsonga ye z’agamba nti tategeera. Kino kiddiridde bakansala abamu nga bakulembeddwamu Ssagala Bayomba Kasim nga balumiriza meeya okukozesa obubi ofiisi ye n’okugya ensimbi mu batuuze. Ba kansala bano […]

Abasamize batabukidde ab’ebiwalaata

Ali Mivule

June 7th, 2017

No comments

  Poliisi mu ggwanga lya  Mozambique erabudde abasajja abalina ebiwalaata nti ababayigga beyongedde. Kino kiddiridde abasajja 2 okusangibwa nga batemeddwako emitwe nga babagyemu ennimi n’ebitundu by’emibiri emirala. Mu ggwanga lino abasamize balimbalimba abantu nti bw’ofuna omutwe gw’alina ekiwalaata oba omaze okugaggawala kale abamu babikkiririzaamu.

Abatuuze bawanjagidde Kasingye

Ali Mivule

June 7th, 2017

No comments

Bya Gertruce Mutyaba Owogezi wa Poliisi mu ggwanga AIGP Asan Kasingye asisinkanyemu abakulu ba poliisi mu district ye Masaka wamu n’abatuuze oluvannyuma lw’ensisinkano n’abasirikale abali mu district eno. Kasingye waakutalaaga district za greater Masaka omwenda mu sabbiiti eno nga alondoola enkola y’emirimu y’abasirikale. Bw’abadde ayogerako […]