Amawulire

Abatuuze bawanjagidde Kasingye

Ali Mivule

June 7th, 2017

No comments

Bya Gertruce Mutyaba

Owogezi wa Poliisi mu ggwanga AIGP Asan Kasingye asisinkanyemu abakulu ba poliisi mu district ye Masaka wamu n’abatuuze oluvannyuma lw’ensisinkano n’abasirikale abali mu district eno.

Kasingye waakutalaaga district za greater Masaka omwenda mu sabbiiti eno nga alondoola enkola y’emirimu y’abasirikale.

Bw’abadde ayogerako n’abatuuze, Kasingye yennyamidde enkola y’emirimu ku poliisi e Masaka olw’okuba nti balemererwa okumanya buli omu omulimu gw’alina okukola mu ofiisi ye.

Kasingye mu lukiiko lweyasoose okusisinkanamu n’abasirikale abaamawulire tebakkiriziddwayo wabula oluvannyuma ayise olukungaana lwabamawulire naababuulira byazudde mu poliisi yomu kitundu kino.

Ono asabye abaserikale okukola obulungi emirimu baleme nga kugyako bantu nsimbi era naabasuubiza okubakolera ku bizibu byabwe.

Bo abatuuze b’eMasaka beekubidde enduulu eri Kasingye nga beemulugunya kun kola yaabasirikale nebamusaba aweereze ba mbega abasobola okulondoola abasirikale empisa zabwe.

Bano batadde enninga ku Kasingye baveeyo ne alipoota entuufu ku bantu abaakwatibwa ku bigambibwa nti beenyigira mu kutema abantu ebijambiya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *