Amawulire

Ab’engeye n’embogo bebaggulawo ez’ebika

Ali Mivule

June 8th, 2017

No comments

Bya Ali Mivule

Bazzukulu ba Kayiira ab’eddira e Mbogo wamu n’aba Kasujja ab’engeye bebagenda kuggulawo emipiira gy’ebika bya Baganda egy’omwaka guno.

Ssabasajja Kabaka wa Buganda  Ronald Muwenda Mutebi  y’asiimye okuggulawo empaka zino nga 8 July 2017.

Enteekateeka eno efulumiziddwa  wali e Bulange Mengo .

Ab’e mbogo baakawangula engabo eno enfunda 2 nga era ebika 43 byamaze dda okwewandiisa.

Bazzukulu ba Katongole ab’eddira ente bebawangula engabo y’omwaka oguwedde.