Amawulire

Abasamize batabukidde ab’ebiwalaata

Ali Mivule

June 7th, 2017

No comments

 

Poliisi mu ggwanga lya  Mozambique erabudde abasajja abalina ebiwalaata nti ababayigga beyongedde.

Kino kiddiridde abasajja 2 okusangibwa nga batemeddwako emitwe nga babagyemu ennimi n’ebitundu by’emibiri emirala.

Mu ggwanga lino abasamize balimbalimba abantu nti bw’ofuna omutwe gw’alina ekiwalaata oba omaze okugaggawala kale abamu babikkiririzaamu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *