Amawulire

Bebi ow’emyezi 4 bamutuze

Ali Mivule

June 14th, 2017

No comments

  Poliisi mu disitulikiti ye Mbarara ekyanonyereza ku mwana ow’emyezi 4 eyatiddwa mungeri etanategerekeka. Taata w’omwana ono ye  Keneth Muhumuza ne Sarah Turyamwijuka nga bonna batuuze ku kyalo  Kibaba cell mu gombolola ye Nyakayojo . Turyamwijuka agamba omwana baamulese mu ddiiro nebagenda mu lusuku baagenze […]

Teri kuddamu kugula masanyalaze ga Rwanda

Ali Mivule

June 13th, 2017

No comments

  Ab’ebyamasanyalaze kuno balina enteekateeka y’okukomya okugula amasalaze okuva mu ggwanga lya Rwanda agakozesebwa  mu tawuni ye Kisoro kubanga gavaavaako. Yinginiya wa  UMEME owa disitulikiti ye Kisoro  Naboth Aine ategezezza olukiiko lwa disitulikiti nti amasanyalaze okuvaavaako kisanyalazza nyo emirimu naddala mu malwaliro n’aba bizinesi. Rwanda […]

DP evudde mu kalulu ke Kyadondo

Ali Mivule

June 13th, 2017

No comments

Bya Ritah Kemigisa Nga okulonda kw’anajuza ekifo ky’omubaka wa Kyadondo East kusembera nga 26 June 2017, ab’ekibiina kya DP olwokaano baluvuddemu nebagyayo omuntu waabwe Lillian Babirye Kamoome. Nga ayogerako eri bannamawulire amakya galeero, ssenkaggale w’ekibiina kino Nobert Mao agamba baagala kulaba ga emikisa gy’abavuganya okuwangula […]

Bannamagoye bakukulumye

Ali Mivule

June 13th, 2017

No comments

  Ekibiina ekigatta bannamagoye mu ggwanga kyagala gavumenti ereme kubaleka mabega mu nteekateeka z’okuyamba abantu abenjawulo bwekituuka ku by’obulamu n’ebyenjigiriza. Akulira ekibiina kino  Jude Ssebyanzi  agamba nti nga Uganda ekuza olunaku lwabannamagoye olwalero, bangi ku bannamagoye balekeddwa ttayo mu nteekateeka za gavumenti. Agamba balina enteekateeka […]

Abaana bokunguudo basusse

Ali Mivule

June 13th, 2017

No comments

Bya Moses Ndhaye Gavumenti eriko  etteeka lyeleeta  okukangavvula  omuntu yenna anaakwatibwa nga awa abaana bokunguudo ssente. Kamissiona avunanyizibwa ku by’okwewala obubenje wamu n’ebyobulamu mu minisitule y’ekikula ky’abantu David Mugisa agamba baagala kulaba nga batiisa abaana okweyiwa ku nguudo. Agamba baagala kulaba nga babonereza n’abantu abasindika […]

Cranes bakomyewo

Ali Mivule

June 13th, 2017

No comments

Bya Ali Mivule Ttiimu y’eggwanga the cranes bakomyewo okuva mu ggwanga lya Cape verde. Ttiimu etonye  ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe amakya galeero ku ssaawa 9 ez’ekiro. Nga baakatuuka boogeddeko eri bannamawulire nebabategeeza byebayiseemu mu Cape verde n’egeri gyebasobodde okukubamu banyinimu  1-0. Omutendesi wa ttiimu Micho […]

Micho alabudde Cranes

Ali Mivule

June 12th, 2017

No comments

Bya Ali Mivule Yadde nga Uganda cranes yawangudde omupiira gwayo ogw’ekibinja ogusooka mu kusunsulamu abanetaba mu za Africa eza 2017 ezinayindira mu Cameroon , omutendesi wa ttiimu Micho Sredejovic alabudde abazanyibe obuteyibaala nti baayiasemu dda. Micho okwogera bwati nga Uganda ky’ejje erumbe  Cape Verde omwayo […]

Ow’emyaka 6 bamusaddaase

Ali Mivule

June 12th, 2017

No comments

Bya Abubaker Kirunda Mu disitulikiti ye Mayuge  omulenzi ow’emyaka 6 amazze ennaku nga abuze omulambo gwe gusangiddwa nga gutemeddwako omutwe nga n’ebitundu by’ekyama tekuli. Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi  ategezezza nga omulambo gwa  Juma Muyita bwebagusanze nga gusuuliddwa mu ssamba y’ebikajjo ku […]

Mutabani atuze kitaawe n’amutta

Ali Mivule

June 12th, 2017

No comments

Bya Malik Fahad Entiisa ebuutikidde abatuuze be  Kyamulibwa mu disitulikiti ye Kalungu oluvanyuma lw’omusajja okutuga kitaawe naye oluvanyuma neyetuga. John Ssempaka  myaka 35 nga mutuuze ku kyalo  Ssebijja Village y’asse kitaawe Ronald Kalegeya myaka 60 oluvanyuma naye neyejja mu budde. Ettemu livudde ku Taata kugenda […]

Eid egenda esembera

Ali Mivule

June 12th, 2017

No comments

  Bya Ali Mivule Nga abayisiraamu bagenda basonjola omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan, baweereddwa amagezi okwongera ku mirimu emilungi gyebakola mu nnaku zino ezisembayo. Olwaleero abayisiraamu basiiba  olunaku lwabwe olwe 17. Kati Imam w’omuzikiti gwe Najjanankumbi   Ahmed Sulaiman Kyeyune agamba abayisiraamu essira essaawa zino lisanye kubeera […]