Amawulire

Eid egenda esembera

Ali Mivule

June 12th, 2017

No comments

 

Bya Ali Mivule

Nga abayisiraamu bagenda basonjola omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan, baweereddwa amagezi okwongera ku mirimu emilungi gyebakola mu nnaku zino ezisembayo.

Olwaleero abayisiraamu basiiba  olunaku lwabwe olwe 17.

Kati Imam w’omuzikiti gwe Najjanankumbi   Ahmed Sulaiman Kyeyune agamba abayisiraamu essira essaawa zino lisanye kubeera  ku nnaku 10 ezisembayo omuli n’ekiro kya “Lailatula Khadir” ekyaggwa edda okugera nga muno mukama Katonda mwagerera ebituuka kubuli Muntu.

Imam Kyeyune agamba omusiraamu essaawa eno alina kwebaka kitono wabula n’ayitiriza  okusaala okwongera okwenyagira empeera.

Imam agamba buli mulimu gubalibwa ku nkomerero yaagwo  kale buli omu asanye okwenyeza okulaba nga omwezi gwa Ramadhan agumalako nga asiimiddwa mukama Katonda.

Okusinziira  ku Hadith z’obuyisiraamu, omubaka nabbi Muhammad buli ennaku zino ezisembayo bwezatuukanga nga kumpi obudde obusinga abumalira mu muzikiti.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *