Amawulire

DP evudde mu kalulu ke Kyadondo

Ali Mivule

June 13th, 2017

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Nga okulonda kw’anajuza ekifo ky’omubaka wa Kyadondo East kusembera nga 26 June 2017, ab’ekibiina kya DP olwokaano baluvuddemu nebagyayo omuntu waabwe Lillian Babirye Kamoome.

Nga ayogerako eri bannamawulire amakya galeero, ssenkaggale w’ekibiina kino Nobert Mao agamba baagala kulaba ga emikisa gy’abavuganya okuwangula ekifo kino gyeyongera kubanga aba NRM babadde bakozesa akakisa k’aboludda oluvuganya okwetematemamu okuwangula okuddamu okulonda okubadde mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Mao agamba ab’oludda oluvuganya gavumenti basobolera ddala okuwangula akalulu kano ate ssinga basemba omuntu omu.

abalala abesimbyewo ku kifo kino kuliko owa FDC Apollo Kantinti, Muwada Nkunyingi ne Robert Kyagulanyi abatalina kibiina wamu ne SSebalu ssitenda owa NRM.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *